0:00
3:02
Now playing: Tonzijukiza Lockdown

Tonzijukiza Lockdown Lyrics by Alien Skin


Byonna bye mwagala
Okola mukole
Byonna by’oyagala
Okola bikole
Naye tonzijukiza lockdown, eh
Tonzijukiza lockdown
Gambye, byonna bye mwagala
Okola mukole
Byonna bye mukola
Gambye mubikole
Naye tonzijukiza lockdown
Tonzijukiza lockdown

Eh, nasooka kuwulira twenty one days
Nendowooza byangu nempita Daisy
Nebayongeramu fourteen days
Nempulira mazima nga njagala goba Daisy
Twatandika nga tulya nkoko
Kuva ku makya nga tulya nkoko
Netudda ate ku magi g’enkoko
Twamaliriza nga tuli ku mmere ya nkoko
Mu lockdown bulaza nga nalaajana
Nz’eyali akakuba nembulwa aw’okupakasa
Ne gye nali mpakasa nabo nebalaajana
Nentwala woofer bampe ku kawunga ate nebazalawa
Okusooka twali mu nnyama choma
N’ebiwaani byonna netubitumya
Akasente konna netukachoma
Naye gye byaggwera ndeka nze tonnyumiza

Nze tonnyumiza lock
Lock lock lock
Tonnyumiza lockdown
Leka tonzijukiza lock
Lock lock lock
Tonzijukiza lockdown
Nze tonnyumiza lock
Lock lock lock
Tonnyumiza lockdown
Leka tonzijukiza lock
Lock lock lock
Tonzijukiza lockdown

Nzijukira nga airport zigaddwa
Nga kawolawola emisinde odduka gya mbwa
Nga kasita okwatakwo oba ogenda kusambwa
Nga towoza nebwokanga
Mbu nti nze ndi kibanda
Abatayagala kusoma be baafunamu
Myaka ebiri ba backbencher be baafunamu
Abalina amamotoka tebaafunamu
Kasita okwatwa ng’ovuga jjeeke gy’ofunamu
Lwakuba muzeeyi yajja n’ankwatamu kko
Ba landlord ab’embwa yabakangamu kko
Abalina akatengo nebakwatamu
Kyokka ate bbo aba kabuli nebapingamu
Waliwo ebigambo bye nayiga bye nali simanyi
Nga sanitizer mu kalantiini nali sibimanyi
Okwetyamula, pandemic nali sibimanyi
N’ebigambo ebirala bingi nnyo bye nali simanyi

Nze tonnyumiza lock
Lock lock lock
Tonnyumiza lockdown
Leka tonzijukiza lock
Lock lock lock
Tonzijukiza lockdown
Nze tonnyumiza lock
Lock lock lock
Tonnyumiza lockdown
Leka tonzijukiza lock
Lock lock lock
Tonzijukiza lockdown

Nasooka kuwulira twenty one days
Nendowooza byangu nempita Daisy
Nebayongeramu fourteen days
Nempulira mazima nga njagala goba Daisy
Twatandika nga tulya nkoko
Kuva ku makya nga tulya nkoko
Netudda ate ku magi g’enkoko
Twamaliriza nga tuli ku mmere ya nkoko