Beerimbise mu mateeka tebali ku mateeka
Ebintu by’abantu babikumpanyizza mu mateeka
Tubikooye (tubikooye)
Obulumi tubukooye (aah tubikooye)
Tubikooye (tubikooye)
Enkola yammwe tugikooye (aah tubikooye)
Bano batemu butemu (tubikooye)
Aah tubikooye (aah tubikooye)
Emirimu bagigabira bamu (tubikooye)
Aah tubikooye (aah tubikooye)
Kyatandika ddi?
Bannansi okutulugunyizibwa mu nsi yaabwe
Kyatandika ddi?
Bannansi okutugumbulwanga mu nsi yaabwe (ffe tubikooye)
Omwana w’eggwanga
Asomedde na mu bugubi naye era takola (ooh)
Okwagala eggwanga
Twakula nga y’ennono naye mmwe mulitutamya
Kati tufuuse ba kadaama lwa mbeera
Abaana ba Uganda lwaki mubatunda?
Amazima olugoogerako nga bakupanga
Olugalemerako nga bakunyoola
Tubikooye (tubikooye)
Obulumi tubukooye (aah tubikooye)
Tubikooye (tubikooye)
Enkola yammwe tugikooye (aah tubikooye)
Bano batemu butemu (tubikooye)
Aah tubikooye (aah tubikooye)
Emirimu bagigabira bamu (tubikooye)
Aah tubikooye (aah tubikooye)
Mbuuza, mbuuza bubuuza siyomba
Lwaki emirimu kati giri mu ba mu nnyumba?
Omunyankole, Omusoga n’Omuganda
Okuva edda n’edda tuli baaluganda
Naye kati otunula n’opimapima
Ng’abamu bbo babasosola
Future y’omwana gwe nina ewaka
Sigiraba, sigirengera
Yiii, ebirungi byandibaddewo ne bikolwa
Nga bannansi mubateerawo bye bakola
Tubikooye (tubikooye)
Obulumi tubukooye (aah tubikooye)
Tubikooye (tubikooye)
Enkola yammwe tugikooye (aah tubikooye)
Bano batemu butemu (tubikooye)
Aah tubikooye (aah tubikooye)
Emirimu bagigabira bamu (tubikooye)
Aah tubikooye (aah tubikooye)
Eno ensi yafuuse y’abanene bokka
Omutono waakufa
Nga tolina ssente omusango tosinga
Kuluno omwavu waakufa
Bwe ntunuulira abakadde baffe abeeyiiya maama
Ka poloti baakanyaga maama
Nga ne w’akolera baamugoba maama
Laba amaziga g’akaaba maama
Omuntu eyandibadde akwasisa amateeka
Agamenya n’akunyigira mu mateeka
Tubikooye
Beerimbise mu mateeka tebali ku mateeka Tubikooye
Ebintu by’abantu babikumpanyizza mu mateeka (yiii!)
Tubikooye
Beerimbise mu mateeka tebali ku mateeka (omwana w’eggwanga)
Tubikooye
Ebintu by’abantu babikumpanyizza mu mateeka (okwagala eggwanga)
Tubikooye
Twakula nga y’ennono naye mmwe mulitutamya
Banaj
Tubikooye