0:00
3:02
Now playing: Amelia

Amelia Lyrics by Dr Hilderman


Ninga eyagudde eddalu naye nga teri mulala
(Amelia Amelia)
Abalala balungi naye obakira Amelia
(Amelia, ah ah aaah)
Bwe kaba kalulu, nze nkakuwa mu area
(Amelia Amelia)
Naye tommenya omutima ng’abalala bwe baakola
(Amelia, ah ah aaah)

Yes Amelia
Leka ndisaleko nkuyite na Ameli
Eh eh nkulaba ng’amata ameeru
Oba olugoye naddala nga lweru, oh oh
Nasabanga, neŋŋamba lulikya lumu one day
One day, gwe nalootanga
Sirimba ndabira ddala yeggwe
Nsaba yeggwe, ddala yeggwe
Mukama essaala aziwulidde
Akumpadde, kati kozzeee
Sirimba ebyange biteredde
Amelia nah

Ninga eyagudde eddalu naye nga teri mulala
(Amelia Amelia)
Abalala balungi naye obakira Amelia
(Amelia, ah ah aaah)
Bwe kaba kalulu, nze nkakuwa mu area
(Amelia Amelia)
Naye tommenya omutima ng’abalala bwe baakola
(Amelia, ah ah aaah)

Amelia
Amelia, Amelia (wulira nkwesize)
Erinnya ndiddiŋŋana
Ojjukire ever obe ku mulamwa
Manya ababutaabutana
Bewaale, bajja ku mulamwa
Ooh manya gwe ttaala yange
Bw’oyaka ndaba gye ndaga (gye ndaga ndabayo)
Eh eh, emunyenye yange
Bw’otangalijja mikisa gy’oleeta, oh na na
Enkulaakulana yaffe kankikugambe
Ebaawo, nga tuli wamu naawe
Enkulaakulana ever ye mukyala
Kyenva nange nonda gwe Amelia Maama

Ninga eyagudde eddalu naye nga teri mulala
(Amelia Amelia)
Abalala balungi naye obakira Amelia
(Amelia, ah ah aaah)
Bwe kaba kalulu, nze nkakuwa mu area
(Amelia Amelia)
Naye tommenya omutima ng’abalala bwe baakola
(Amelia, ah ah aaah)

Leka nkugambe kye ndowooza
Kyandiba, nga naawe ky’olowooza
Tugendeko e Mawokota
Wokota wokota bwe tubuuza
Gye banzaala, bakwesunga
Balindiridde ddi lw’olijja, oh maama
Ekisinga okunnuma
Olimba naawe walwayo nnyo (walwayo nnyo nnyo walwayo)
Naye kozze, wokota tokosa biteredde
Osaanidde Amelia

Ninga eyagudde eddalu, no no no oh
(Amelia Amelia)
Abalala balungi naye obakira Amelia
(Amelia, ah ah aaah)
Bwe kaba kalulu, twala twala nkakuwadde
(Amelia Amelia)

Ah na na, oh na na
Oh na na yeah
(Amelia, ah ah aaah)
Bw’ojjanga eka, e Mawokota
Wokota wokota bwe tubuuza
(Amelia Amelia)
Bw’ojjanga eka, e Mawokota
Wokota wokota bwe tubuuza
(Amelia, ah ah aaah)
Emunyenye yange, essanyu lyange, ekitangaala
(Amelia Amelia)
Manya yeggwe maama eh
Amelia, wokota wokota bwe tubuuza
(Amelia, ah ah aaah)
Essanyu lyange, munyenye yange, kitangaala
(Amelia Amelia)
Bw’ojjanga eka, e Mawokota
Wokota wokota bwe tubuuza
(Amelia, ah ah aaah)
Amelia, oh na na
Amelia, oh na na
(Amelia Amelia)
Nkwesize gwe, oh na na
Amelia, ah ah aaah ah
(Amelia, ah ah aaah)