0:00
3:02
Now playing: Koyi Koyi

Koyi Koyi Lyrics by Feffe Bussi


Yeah
Eno ssi remix eno freestyle
Nagikubye ne Ian mu Zamba style
Okawulirizaamu once in a while
Koyi koyi, ggwe!


Koyi koyi?
Lya   
Koyi koyi?
Lya
Ono akirya oli akirya
Wulira bwe nkirya
Koyi koyi?
Lya   
Koyi koyi?
Lya
Ono akirya oli akirya
Wulira bwe nkirya

Yeah
Kampe respect Zamba
Mmwe tewali kye muŋamba
Sauti ya samba
Ate omwoyo gwa ggwanga
Nkikola lwa Uganda
Ne Legend of Zamba
Na buli ali eyo anyumirwa Luga wa Uganda
Nzijukira nali mu S.2
Ne mpa Zamba amatu
Ne mukoppa ne muyigirako saakola mputtu
Nga Mun G ow’ebintu
Kati mbakuba one, two
Tebamanyi what I’m up to
Ekitiibwa kya Yesu Kristu
Kankukube boyi boyi
Mu ŋŋoma ya koyi koyi
Nkuweerewo nkuliirawo tonyumya bya ddoyi ddoyi
Mbuuza nga mussoyi mussoyi
Gwe n’oddamu ccoyi ccoyi
Tunoonya answer ffenna to the riddle of koyi koyi
Towakana
Ssi ggwe ayakisa omwezi n’omusana
Ssi ggwe asoose wuliriza ku bizibu bya Bafana
Ensi ffenna yatukwata mwana n’etugabana
Abamu Nansana abalala baddu mu nsi z’akasana

Aah, wulira
Saalina master plan
Wadde back up plan
Ne bambuuza ogenda kikola otya gwe man?
Kyali kya ntiisa kuba saalina na maanyi
Nga Sheilah Gashumba neesiga God’s plan
Nali mugumu, nga nkimanyi I and I munda nze ani
Bampima ku minzaani ne bammala amaanyi
Nzijukira akacupa k’omusulo akankubwa fan
Ne nsaba Kitaffe amusonyiwe tamanyi nze ani
Naye nga yenze ani?
Kabaka mu clan
Nze nkokoto eggumiza Hip-Hop stand
Nze kitangaala ekigoba ago amasitaani
Sizoleya bya buwangwa true African
Moment of silence eno beat ngisse
Zamba yalagidde omusika agitte
Mwebale abakungubazi mwenna abaziise
Akazannyo kaweddemu flag mpanise

Yo
Nasamba nnyo nze mu lubuto lwa maama
Nalina kuba mukubi wa migere nze mwana
Naye eno ensi ate g’okaaba g’onaaba
Abamu ennaku ya kuno ate bagiyonka butaaba
Kankunyumize gye nava era
Bazaala buli kaseera
Sex ye TV y’omwavu kw’amalira ebiseera
Bambi tobanenya era
Kubayita baleera
Kuba b’oyita abaleera
Nange gye nava era
Bwe mbala emyaka bambi gye nsulidde ku seminti
Nsaana obwa Ambassador
Mu kampuni emu mu seminti
Bwe nzijukira, Mukama gyanzije okumpa hit
Nange nfunayo gwe nnyamba, wansi ku street
Kankuzzeeyo emabega katono
Nga ssinnaba ku musono
Nga rapper akubwa omu, ng’ate afuna kitono
Nga ne bu show butono
Nga bu deemu butono
Naye kati twawamba
Ian ku musono

FBM babe
Yeah
Oli akirya babe
Yo
Greatness has no limit babe
FBM am pressing the digit lady (ha ha ha)
Yo Feffe Bussi wo  respect to the Legend of Zamba
Kati nze abasamba (haha)