0:00
3:02
Now playing: Mbaddewo

Mbaddewo Lyrics by Hatim And Dokey


I wouldn’t be the same without you darling
Na na na na na
Chemical Beats
Affairs of the heart
Na na na, na na na na
Junior Marley know
Showtime Beats already know
Na na na na na
Na na na na na eh
Happy African

Nze mukwano gwo omu bwati
Abaddewo okuva ddala mu kusooka nti (era)
B’osisinkanye mmanyi si bangi
Naye bonna tebigenze bulungi
Ng’obeewa bulungi neweemalayo
Newekokota n’obeemaliramu
Oyagala bulungi okiraga nnyo
Nti omanyi okwagala
N’olwekyo omukisa oguddako bambi gumpe
Nsaba tuddeko mu love nange
Nzigyayo mu friend zone naawe
Nsobola okukwagala kuba

Mbaddewo
Nga mpimampima
Nga n’omusajja gw’ofuna nkusanyukirako
Mbaddewo
Nga ntunula
Ng’omutima gwo bamenya nebasuula awo
Simanyi
Oba oyinza okukyusa omutima n’amaaso go
N’obiwa nze
Nze mukwano gwo oyo gw’ogamba asingayo
Kubanga mbaddewo
Oh oh, uuh
Kubanga mbaddewo

Olinenya ani bwe balintwala?
Buli olukya enjuba ebala essaawa
Kirooto kyaffe kankiteeke mu ssaala
Ate tonsaasira dear ngya kukaaba
K’obeere n’abasajja ng’obaswitchinga
Tewali bwotyo bagenze bakuchanginga
Nkumanyi, obulako kya kudecidinga
Ndabika ndabye equation y’obalancinga (bestie)
Omukisa oguddako naawe gumpe
Nsaba tuddeko mu love nange
Nzigyayo mu friend zone naawe ooh
Nsobola okukwagala kuba

Mbaddewo
Nga mpimampima
Nga n’omusajja gw’ofuna nkusanyukirako
Mbaddewo
Nga ntunula
Ng’omutima gwo bamenya nebasuula awo
Simanyi
Oba oyinza okukyusa omutima n’amaaso go
N’obiwa nze
Nze mukwano gwo oyo gw’ogamba asingayo
Kubanga mbaddewo
Oh oh, uuh
Kubanga mbaddewo