0:00
3:02
Now playing: Byemulinanga

Byemulinanga Lyrics by Ssemakula Herman Basudde


Seetaagira ddala awakana
Kubanga bino bye muliba munnanga
Ng’abaali abanywanyi munkyaye
Kuba okwatulira kibuza banno bo
Kaakati nga bwendi wa kalere
Ndiganza abalala abapya nebanjagala
Ye abulwa emikwano abulwa n’eŋŋanda?
Muliba mumaze bya mu bulago
Nga n’ewagendera ddala okuva ettaabu
ŋŋenda kwogera ku bya kufuna
Ebitugomosa emisana n’ettumbi
Ate teri akkuta afunye n’atannafuna
Mwattu abafunye bakudaalira abaavu
N’abaavu nebakukkulumira abafunyi
Omugagga bw’akutonera ekiwale
Weebaza omutima gulimu obuteeyagala
Anti tewaliiyo agula mpya n’agikuwa
Emala munyiwa n’ategeera bw’oyagala
Laba bwe weebaza ng’obina n’ebisige
Mugabankadde ate olwo naye n’ayomba!
Munaatulemesa obawa bye mwegomba
Mutwebazangako empale nzibu okufuna
Munno muwe empya oba omujje mu bunaku
Gy’anaamalamu ebbanga alyoke yeeyanze
Abagagga abamu babeera n’agabuto
N’emigongo emigazi ng’entobo y’essaniya
Empale yo ogiwadde munno asula n’okusula
Anaagisiba atya ku kannya k’ekiwato?
Kitawe laba aguluba n’oguwale
Awo oba toyambye obonyaabonya Yosiya
Sso omuwonyezza okunamira abalabi
Naye muwe emugyaamu ky’ekyo kye ŋŋamba

Naggambye ntuuse okubulwa n’annyamba
Njogedde ku bagagga luno naakalaba
Omanyi abagagga twabatuuma lya taata
Nfuna obuzibu nenzijayo n’onnyamba
Bw’amala okuyamba kitawe neweeyanza
N’akutegeeza nga bw’ali munno wo
Naye okkuwa amagezi otuuke ku ssa ly’abafunyi
Takikoonako akoma ku yannyambye
Ye n’omala ogeza okukoona ku nsimbi
Nti mpa nkozese mpone engeri ekusaba
Takwanukuza na bigambo bya lulimi
Akoma ku kaliiso naawe n’oweera
Ebintu bizibu ate laba n’omwavu
Tukyala mu bagagga twagala nsimbi
Era bw’azikuwa n’emisanvu n’ogitema
Butaddayo kulaba ofunye kye wali oyagala
Ekizibu kimala kujjawo neweeyagula
N’ojjukira munno wo omujunyi mu bunaku
N’abagagga ennamusa awo kye yava efuuka
Mutawaana ki ng’ogenzeeyo omulabe
Gw’ate mu mirembe obula n’ozaawa
Bw’akulengera amanya bwe byakaaye
Naye n’abagagga mutulemesa abaavu
N’obakyalira kye tuva twekulula
Nkaaba ya munnyo gw’ate onyumya bya dollar
Bwezaasalise mu forex bureau
Era ze naguze zino naguze za layisi
Ng’omwavu manyidde wa bwe bagula n’ensimbi!
Nze bye neegomba bigulwa na nsimbi
Oziguza zinnaazo oba ondese mu by’onnyumiza
Naffe okubalaba kye tuva twekulula
Netukyalira banaffe bwezikyatulaba

Nze olumu neerabira obukondo ku nnyumba
Obusiba obuggi nga nakomyewo nkooye
Olumu neerabira obukondo ku nnyumba
Obusiba oluggi nga nakomyewo nkooye
Neneewunya twebaka netwogolola!
Banaatulanga ki abamenyi b’ennyumba?
Bo abagagga enzigi bazisibya jjiribwa
Oba ssi kkufulu esinga omutwe gw’akayana
Naye ate mwattu bazibagguza ettumbi
Nti tuggulirewo ffe tunonye nsimbi
Otulo netusinga okuwoomera abaavu
Osanga batudde mw’ekyo nebeewaana
Ebintu bizibu nga naawe bw’obiraba
Buli agaggawala asiiwuuka amayisa
Obuntubulamu butwalibwa ensimbi
N’asigala awo ekikonge kya Mukama
Omugagga akukola ekibi ekinaakuluma
N’akuwooyawooya n’empapula z’ensimbi
Ate n’abaavu ku bagagga beefuula
Nga basookera ku ky’obapangira ebivumo
Binnyonkondo ng’omanya alina nnyingi
Ekyo ekivumo oba okifunye lwa nsimbi
Ate bo abaavu olw’okubeera n’entondo
Agabatuumibwa bagayita bivumo
Era odimuyita akukyawa n’azibula
Nti laba senga ono afukumuka amaziga
Obwavu bwe buyinga ku muntu obungi
Obwongo butalagga n’ateegomba
Ate ateegomba agayaala n’okukola
Obwavu y’engeri nno gye butwewasiza
Ate abafunye okwerabira abaavu
Bwe mwazirunda n’omuleka n’avunda
N’asigalira okukusaba ekikumi
Mukwate ku mukono gw’alabye gy’ogenda

Agaggawala okwerabira abaavu
Kibeera kibi nnyo ofunanga banno bo
Naye nno n’abagagga wano baagambye
Bafuna obuzibu okwesembereza abaavu
Mbu gw’owa ekkooti akusaba n’ekiwale
Munnange gwe wammanyiiza nsaba n’ettaayi
Abagagga bamanyi okuduulira abaavu
N’abaavu nebanyiikira ku ky’entondo
Ye mwali mwetegerezza obugagga bw’ekikazi?
Omukazi aba mubi nnyo ofunda n’omwami
Oba bannaffe bo engeri gye baakafuna
Bafune omusomo ku neeyisa y’ensimbi
Omukazi omugagga ku bakazi banne be
Nnyabo house-girl okolanga wa mwami
Ewa mukazi munno olidda n’oŋŋamba
Naye nammwe mukomye obaagalira abaami
Obigula akabina bba akulabe bw’otekena
Wagenda kufumba na kwera mu nnyumba
Ku nsonga eyo nkukkulumira abawala
Wulira mbu ate eyo eba nsobi ya bakazi!
Abakazi abafunye basiruwala ensimbi
Ekituusa amaka go okulabirirwa omukozi
Y’agula obuliri y’amanyi ne bw’anaaba
Era y’agolola zonna engoye za bba wo
Gw’atera okulaba oba otalise mu nsimbi
Afuna obudde obw’omwekkanya ekikolo
Bye bizibu ebiri mu bugagga bw’ekikazi
Yadde emboozi gye nnyumya eyitibwa bya kufuna

Eby’okufuna biba bya ngeri nnyingi
Ensimbi gattako n’ebintu ebikalu
N’abaana bennyini bibeera bya kufuna
Muka omwavu awundulula n’akutama
Bwe twebuzaako okuzaala kw’abaavu
Eyannyanukula era n’aba mwesimbu
Yasooka n’ambuuza omuntu okufuna olubuto
Mitendera ki mw’ayita abe n’olubuto?
Kko nze omukazi abeera n’omwami
Nennyongerako n’ebirala bye nalaba
Kye yava anziramu nti mu maka g’omwavu
Temuba bimala budde gaba ga kyavu
Ttivvi, laadiyo n’abagenyi abangi
Olumala okulya kitanda y’alamula
Mu bufumbo ky’ekiba ekiwummulo ekikulu
Lwaki taazaale nga ye ttivvi y’omwami?
Omugagga w’alowooleza okugenda yeebikke
Tulo twetumukuula eno mu ma ttivvi ge
Kko nze ssebo toyongerako by’oŋŋambye
Ntegedde awava okuzaala kw’abaavu
Gw’awuliriza ebigambo bye njogera
Matira ekintu ekyo ombuulire wennimba
Waliwo n’ekintu ekyali kyantabula
Nakyeddiramu awo nzekka nemmatira
Neebuuzanga ekitambuza bano baka banene!
Nga buli kimu akifuna nga bw’aba yeegombye
Wabeerawo ebirya ebiseera bya bba we
Obufumbo nebugwirira ddala olubege
Mufune otulo kw’emu ku ngeri y’abaavu
Munaaba muvumudde eddalu ly’abakazi

Nandazze ku kigambo bya kufuna
Ng’ate nkyalinawo akatono ke ŋŋamba
Abagagga bano ekibalwisa n’ensimbi
Omugagga alingiriza ekikumi
Ate omwavu bw’ayiwaayiwa ensimbi
Gyoba ntinno azitoola ku kkutiya!
Omugagga bw’akuwa omulimu n’ogukola
Balina omuze guno basasula mu biwagu
Balwanye nnyo okutusiba mu bwavu
Sso tukola ebyabwe nebibeeyagaza
Jjo bwe nasanga ate omugagga y’aŋŋamba
Omusango guno gwandibeera gwa mwavu
Omwavu akola libooni we nga tannakola
Agenda asabayo atyo mpola ate toomulumye
Agenda okumala eyapatana olukumi
Ng’abanja bibiri era nabyo n’obimuwa
Ate k’ozimalayo zonna nga tannakola
Waakozeeko w’akoma awalala taawakole
Ku nsonga eno nkukkulumira abakozi
Wadde n’abakozi bakukkuluma mu bye ŋŋambye
Ye okimanyiiko omugagga bw’aseera?
Ng’ate ye by’agula ayagala bya layisi
Omugagga ebigambo bye ng’akwana omukazi
Bibeera birala nnyo nnyo ku by’omwavu
Omugagga alagira ng’alagira ente ye!
N’okujerega oyo gw’aba yeegombye
Omwavu aba n’akawoowo ku munne we
N’okwerimba ebyo by’aba tannafuna
Naye gye mpitira abakazi baagambye
Okwanibwa omugagga ayagala omwavu
Omwavu kaafunye akawa ku munne we
Nti abagagga mukomye okodowalira ensimbi

Ki ky’ofunye era ky’oyize mu bye ŋŋambye?
Gwe obwedda awulira ebigambo bye njogera
Kijjukire nti mbadde nnyumya bya kufuna
Olabye bwe bitutuusa ku bintu ebingi
Abagagga bakukkulumira abaavu
N’abaavu nebateekera ddala abafunyi
Olukonko lwonna luva ku nsimbi
N’ebyobugagga byonna ebintu ebikalu
Abaavu mukendeeze ekintu ntondo
N’abagagga mumale okujerega abaavu
Eby’okufuna omwavu ayamba eyafuna
N’omugagga ayamba omunaku
Ne Bayibuli erinawo weerimba
Nti abagagga mu ggulu balibeera ku kifugi
Katonda tayinza kubeera na ntondo
N’aggalira nagagga eyazimba n’Ekkanisa
Naye ate wulira ono omwavu bw’agambye
Bazimba Ekkanisa mu ze babbye ku bannaabwe
Onoonya omutuufu n’akubula
Nze kye nava ndufuulira ddala olutalo
Saagala mwavu kunsemberera nanyiwa
N’omugagga seetaaga kujja weŋŋumbye
Tusisinkane Basudde w’abangi
Kaŋŋende nnoonye byemulinanga!