0:00
3:02
Now playing: Bakowu

Bakowu Lyrics by Sir Mathias Walukagga


Waliwo abaawulira nti Walukagga ayimbye
Eh nabo ne bajja
Engeri okuyimba kwaffe gyekutaliimu bya interview
Ennaku eri mu ndongo
Abayimbi b’ennaku zino oli ava mu kyalo
Ng’alina gw’azze okulwanisa
Omulala n’asalawo awalampe Mulumba
Mbu amuddemu atere amanyike
Sso oluyimba lw’oyiiya ng’omaze okukaawa
Kizibu nalwo okuwooma
Nze najja n’ekigendererwa eky’okusomesa
Obugagga bulijja dda
Abamu nno bajja lwa nnaku
Nga n’emitaafu bwe gibeetimbye obwenyi
Obusungu bw’omuddugavu okumutegeera
Otanule okumutikka entamu
Ye bakulabudde omutego nti gutuga ekigwo
Alina obulago n’ojja!
Nze najja negomba enjiiya y’abalenzi Mabiriizi ne Kafeero
Era nabeeranga awo nga mbabuuzaabuuza
Bwe baali tebanazaawa
Naalibakongoseeko nange bwentyo ne ngwa
Singa nali mbalwanisa
Nzikiriza okutunda kw’omuyimbi oba osiraana
Migereko gya Katonda
Wandiyimbye ky’owulira nti omuwagizi wo
Kimuttulula n’akatuuyo
Olw’okuba oyagala erinnya n’obuswandi
Omaliridde n’okuwemula!
Neegolodde bwa ntoogo laba leero ssi bwa mmuli
Kuba bwo bugwa ennyingo abakoowu mutya?
Abantu bakambwe nnyo nnyo ensangi zino
Beekengeregana nga bakessi
Nze mbulwa n’otulo nga mbuuza omwoyo gwange
Abaliisa n’omutaama
Obufumbo lyali ssanyu na kwesigaŋana
Obwa luno bufumbo ntalo
Laba bw’okwata etteretebbwa ly’ennusu
N’olyanjulamu omuntu atakwagala
Ng’ewuwo alindirawo gwalimatira
Mu mmanya endala nga yeggamye nkuba
Gw’osabye okuwola akwenjeeza
Mpaka n’obwoya lwebukwamuka obutumbugulu
Bantu tebakyasaasira alumwa!
Tebakyayamba ali mu ttabu!
Tebakyadduukirira nduulu!
Yadde afiiriddwa ogenda bamusuze!
Bwe nababuuzizza ekyabaviirako oba ki?
Banzizeemu nti bakoowu
Mbu baasuzza nnyo nnyo abantu
Kyokka bo bwe baafiirwa nebatabasuza!
Mbu baasima nnyo nnyo entaana
Bo olwafiirwa tebaalaba ku muntu yajja kusima!
N’okuziika ne bakukyawa
Temubanenya mbuno bakoowu
Mbu baawola nnyo nnyo empiiya
Bwe baayavuwala teliiyo yabakombya kido kya nnusu
Ba malaaya baaliko mu bufumbo
Kati bali mu ka wamu bakoowu
Mbu baasooka ne baba ba mpisa nga beesigwa
Ne batasiimwa yadde yadde
Ng’omukazi abeera waka bba kusajjalaata
Olumugambako n’atimpula
Baalaba bakubwa nga nte kko bo tufa ki?
Nabo ne balalanga
Kati abafumbo benda nga mu loogi be bayise
Nti mujje mulabe Katonda!
Mbu beekuuma ne bakoowa
Kati beesiibira ma loogi lwa bukoowu
Baafuuka ba malaaya lwa bukoowu
Abandi beeyombekedde lwa bukoowu
Ate ggwe sseruganda
Onolangirira ddi ntino okooye?

Teba enkomerero y’ensi eno gye baalanga
Abantu okwogerera awamu nti “twakoowa”
Taba nga ne Katonda yatukoowa dda?
Olwa buli omu okola ky’alabye yatwesonyiwa
Bammemba ba parliament obutakiika
Nabo bampadde ensonga
Mbu bayisa amateeka ne gatakola
Ne gajolongebwa obukundi
Olw’okuyisa amaaso mu bantu abaabalonda
Ne kibaviirako okukoowa
Beekalakaasizza ne bakoowa
Era beemeketera mbu kati nthimbi
N’abalonzi nabasanze
Nabo ne bandiiramu mbunno bakoowu
Okkeeranga ne balonda abo be baagala
Ku nkya ne balangiriramu ate be bataawa
Njogera amazima ng’owejjanga abika
Mbu bafuuliddwa nnyo abawumbatuutu
Omusaala gw’abasomesa okuba akawujjo
Nabo tebakyagwirana
Ekyo ky’ekiviiriddeko nno n’amasomero
Okoppa n’okubba ebigezo
Tebakyasomesa bakoowu
Ani aloga Uganda obutaweera?
Omusawo akuyitako awo ng’otaawa, ooh
Omusawo akuyitako awo ng’otaawa
Ng’ebirowoozo biri ka bamubanja enju
Yasaba bongere omusaala beerema
Kati ajja lwa kutuusa mukolo
Oba ofa n’ofa
Yajjanjaba naatasiimwa
Yeediima n’abikoowa
Asuddeyo ogwa Naggamba lwa bukoowu
Maama Fiina gw’oyogera n’emisambwa
Gira n’osamirira olukalu naawe
Bama sheikh n’abasoosoolooti
N’abapoto nsaba mukanye essaala nnyingi

Abantu beewola ennusu okuva ma banka
Bye baasingayo ne bitwalibwa
Beewola kulwanisa bwavu okuwunzika
Nga ne ke baalina kakumbyewo
Bali mu nnaku etagambwa
Naye tebakyayinza kwewola bakoowu
N’aba security bakoowu
Kati babba ate be bakuuma
Baddereeva n’abasuubuzi
Babula kudduka mu ggwanga
Ab’enjaga ab’obutayimbwa
N’ababbi mulangirira ddi ntinno mukooye?
Mukama olindaki gy’oli
Ku kino ekiri mu nsi y’okulya obutanga?
Buli muntu ogamba nti akooye
Nsuubira kalinga ng’akalango
Nti lwalyekyawa asuulewo okukoowa
Kyangu okola ekisingawo
Ssebo nebwebeera embwa ogikijjanya ennyo
Kigiviirako okulaluka
Nsaba be kikwatako nti mwetereeze
Mbyogedde nga mulanzi
N’abadde tayogera
Olimwekanga apambanye lipo
Ng’olwo omusumba w’e Kitagata
Mu gganduula akaalakaala na ffumu
Eyo embeera ssigiwagira
Kasita okugema kusinga okuwonya
Oli wa ddembe n’obizalawa
Nze njogedde abantu ebibaluma
Mubeereyo mirembe bakulu
Aggundegunde Omuteregga ayi Beene oyo
Bantu bakoowu
Waliwo abaddugavu kye twalya
Abeewa obutwa bakoowu
N’abeetuga bakoowu
Okumanya bakoowu
Nange mbikomezza awo nkooye