0:00
3:02
Now playing: Nambole

Nambole Lyrics by Sir Mathias Walukagga


Otyo Mable ke nkusanze leero
Ŋamba oba tonjagale mbipowe
Ababaka be ntumye ndulundu
Owoza nindeko mpaka ddi?
Mukwano tombalaamu kantu
Onfunvubiddeko ontawanya
Naye no gw’otawaanya ssi mwangu
Gwe yadde obulungi bwakuyinga
Nange erinnya lye nkoze ssisaaga
Bansasulira kundaba
Gwe ate onzikakkannyeko ojolonga
Mable gy’okoma okunnumya
Teekateeka bya kuwoza bwe nfa
Akwagala ebituufu yenze
Bwongo buli ku bakulimbalimba
N’okusuubiza ebitalibaawo

Ba ng’aŋezesa Mable olabe
Nga nkola practice
Yingira goolo nsambe mu myenda
Ngya kuteeba mu busonda bwokka
Tugende e Namboole leero
Nkusimbe omupiira gwo otereere
Mbu ekisaawe baakisaaye kyonna
Obuddo butototololo
Akasaawe baakasaaye konna
Obuddo butototololotto

Anaaba aloga abalungi kyokka
Omuntu oyo yandiba nga Mwamba
Becangira ku bantubalamu
Ne betunga ku bu zaakulubba
Otagala n’obulenzirenzi
Mable oli ku bulungi bwo ovulunga mu ttosi
Bye bunjogerako nfofoolo
Nga bwendi omwenzi ataweneena
Era eyabulwa ne laavu mu nsi
Byogerwa n’abasajja kyokka
Engeri gye bakwanamu Mable mbi
Atali muli wa bisiyaga
Naaligibalagiddewa emmese ezo
Omulenzi omulungi omuto
Ever smart yenze
Ate buli lw’olilungiwa
Bye bakwogerako ndaba ebyo
Mable twala amazima gange
Nkupacce laavu yo otereere
Ndaba nagimma baakusooka
Ngintikkuleko emmenya nfa

Ba ng’aŋezesa Mable olabe
Nga nkola practice
Yingira goolo nsambe mu myenda
Ngya kuteeba mu busonda bwokka
Tugende e Namboole leero
Nkusimbe omupiira gwo otereere
Mbu ekisaawe baakisaaye kyonna
Obuddo butototololo
Akasaawe baakasaaye konna
Obuddo butototololotto

Ŋenda okukwokya amalaavu Mable
N’ababadde bangeya baswale
Colour oli mu ya chocolate
Ne ka size akasaamusaamu
Nga ntagadde n’okuzuula
Katonda mu butuufu gyali
Obulungi bw’oliko Mable
Ebintu byo bizze mu nkola mpya
Okwefaako ekisukkiridde
Bwe bulungi bw’abamu Mable wano
Besaaba agazigo gaabwe
Ne basuubira baalungiye
Abalungi b’ebizigo sweetie
Obamponyezza dear
Gwe tewetaaga repair yonna
Oleese form muntu wange
Ŋenda okukuba embaga oweweere
Ate ekirungi n’eddiini y’emu
Fr. Banadda e Butende gyali
Ye mu Paatiri gwe ndabye otugatta

Ba ng’aŋezesa Mable olabe
Nga nkola practice
Yingira goolo nsambe mu myenda
Ngya kuteeba mu busonda bwokka
Tugende e Namboole leero
Nkusimbe omupiira gwo otereere
Mbu ekisaawe baakisaaye kyonna
Obuddo butototololo
Akasaawe baakasaaye konna
Obuddo butototololotto

Nkusaba onnange mu nsi yonna
Mbe omukuumi atalikyuka
Era nsaba federo yange
N’obwakabaka obutalikyuka
Boogere balikoowa
Nti ensi eyitibwa Mable
Yesamba democracy
Ng’obukulembeze buwooma
Teri abutuukamu buta ate
Mpozzi omukadde Mandela
Ye mu nsi ey’akikoze yekka
Eeh mukadde Mandela
Ye mu nsi ey’akikoze yekka
Entebe ya pulezidenti
K’ogintaddemu kiwedde
Ka nwanyise abalabe bange
Ebivve ebinkonjerwa enkumu
Byogerwa lwakuba ntebe eyo
Ababadde batwegwanyiza
Kati bayiiya kutta muntu
Naffe tutaayize ensalo
Okwetanga atabaala yenna
Omukambwe amanyi essasi
Kayanja y’alina otukuuma
Sorry bendese ebbali
Bulijjo gwe njagala y’ono

Ba ng’aŋezesa Mable olabe
Nga nkola practice
Yingira goolo nsambe mu myenda
Ngya kuteeba mu busonda bwokka
Tugende e Namboole leero
Nkusimbe omupiira gwo otereere
Mbu ekisaawe baakisaaye kyonna
Obuddo butototololo
Akasaawe baakasaaye konna
Obuddo butototololotto