0:00
3:02
Now playing: Nzira City

Nzira City Lyrics by Maulana & Reign


Twasembayo okweraba ku mbaga
Wali mperekeze ku mukolo gwa Uncle Jimmy
Tojjukira akalenzi ak’esswaga

Nzira city
Nzira city
Uh laaa
Eddie Dee

Hello princess ogamba otya?
Kyemmanyi eddoboozi era tonfuna
Yenze Reign muto wa Martha
Nsinzidde mu Vile
Twasembayo okweraba ku mbaga
Wali mperekeze ku mukolo gwa Uncle Jimmy
Tojjukira akalenzi ak’esswaga?
Mu bell bottom ekipale kya Longido
Hmmm babe bigenda bitya?
Nange ndi eno nnoonyaamu
Ssente zibula nezitubukusa ne airtime
Abadde wa pambana

Ne bw’ondaba bwoti (nzira city)
Nsange omwana (nzira city)
Ali eyo anninze
Ebbanga liwanvu, oh
Ne bw’ondaba bwoti (nzira city)
Nsange omwana (nzira city)
Ali eyo anninze
Ebbanga liwanvu, oh

Wano Uncle Jimmy yali ajja mu kibuga
Nemmuwa akapapula akakuwe
Bweyakomawo namala ga mu bulago
Teri kyeyaggya mu city
Mbadde ndi awo mbirowooza
Ne nzijukira akapapula ka Martha
Kewamuwa kw’olwo ng’olinnya Gaso
Oh kwenzigye ennamba yo
Ye lwaki sinaabye ku kagere?
Nteekeko ekkooti n’empale
Mpangepange nzije nkulabe
Nkwesunga neesunga ojje tubikole

Ne bw’ondaba bwoti (nzira city)
Nsange omwana (nzira city)
Ali eyo anninze
Ebbanga liwanvu, oh
Ne bw’ondaba bwoti (nzira city)
Nsange omwana (nzira city)
Ali eyo anninze
Ebbanga liwanvu, oh (eeh)

E Kampala ontwala ziba mmeka?
Duleeva nkwata ng’ekyatika
Gwe ŋŋenda olaba mmuleeta maka
Hmmm, owange mmuleeta waka
Genda genda mpolampola
Mpolampola togeza nze n’ompisa
Omwana wuuyo oh
Maama wuuyo nze mmulabye
Ye ng’ogezze oli ku bikoko?
Mbu munywa bi yoghurt, mata ga mbuzi
Mpa ka hug nze mbirabe
Neesunga nkwesunga ojje tubikole

Ne bw’ondaba bwoti (nzira city)
Nsange omwana (nzira city)
Ali eyo anninze
Ebbanga liwanvu, oh
Ne bw’ondaba bwoti (nzira city)
Nsange omwana (nzira city)
Ali eyo anninze
Ebbanga liwanvu, oh (yooyo yooyo)