0:00
3:02
Now playing: Kisaaganda

Kisaaganda Lyrics by Maureen Nantume


Evans
Oba bino mbikole ntya?
Laavu yo ensudde wala mu bisegguusi
Omutima ogututte nnyo
Sirinaawo mulala wa kulowooza
Kati n’abankwana bannyiiza
Kyenva nasalawo mbaloope ewuwo eyo
Eyo gy’ontwala sigaane
Naye tomenya, omutima
Ontuuse wala
Kino kisaaganda
Ekya laavu nze bino mbikole ntya?
Essanyu ompadde nnyo
Oluusi liyitirira nze ne nkaaba
N’amagezi munnange
Ogamazeemu omukwano guntwala
Eyo gy’ontwala sigaane
Naye tomenya, omutima ontuuse wala
Both
Naye omukwano guntwala
(sirinnya)
Ate nga nange sigaane
(eeeeh )
Laavu ondaze nnyingi
Ompa kisaaganda maama nnyabo
Laavu yo kisaaganda
Nange guntwala
(sirinnya)
Ate nga nange sigaane
(eeeeh )
Laavu ondaze nnyingi
Ompa kisaaganda maama nnyabo
Laavu yo kisaaganda
Nantume
Luli nga ne bwe ndaba, abaagalana
Mutima muli mbenyiwa
Era ne bye bekoza nze nga binnyiiza
Obw’omu buluma
Ontisse laavu mwana ggwe
Emmenya, eringa mugugu
Toguntikkula ndeka nze
Bwe ngusuula ate mba nnumwa
Nva ntya ku luzzi?
Ate ne noonya ab’obwendo?
Ddalu lyennyini
Kino kisaaganda
Ekya laavu nze bino mbikole ntya?
Essanyu ompadde nnyo
Oluusi liyitirira nze ne nkaaba, aah

Talemwa Lyrics – Maureen Nantume ft. Pr. Bugembe

Both
Jangu eno ondereko
Oba ogaanye kankaabe
Abalungi ntoko
Ntidde munnange tongiwa
Eeh, gwe totya munnange watuuka
Ng’oli nange tokaabe
Nga naye nkuleka ntya ng’okaaba
Mbu ba Naka bantwala, noo
Anti nawulidde beewera
Munnange tebakutwala baby
Bwe bakusumbuwa jangu ondoopere
Ah bali tobafaako bonna mbalimba
Olina kisaaganda
Ekya laavu nze bino mbikole ntya?
Ddala ndaba olina kisaaganda
Ekya laavu bino mbikole ntya?
Omutima ogututte nnyo
Sirinaawo mulala wa kulowooza
Gira ne tuvaawo
Ndaba tuli na late aah