0:00
3:02
Now playing: Sente Ye Kyeyo

Sente Ye Kyeyo Lyrics by Mesach Semakula


Mukola bubi ababa sente z'omuntu we kyeyo
Gwe buuza ababerayo
Buuza ku ffe abatuseeyo
Nembeera y'obudde yooka yooka ekuwunza bubi

Natumidwa omuntu
Nga naye elinya siryature
Yagenda ku kyeyo
Okukolera future n'abaana be
Oturo yatusiba kumuguwa
Eby'empewo n'omuzira tonyumya
Akola shift ku shift
Ne zileaving tazitaliza
Eno police neturugunya naaguma 
Akolere future
Alina obubaka bweyantumye
Eli family n'emikwano gye eh!
Baweereza ensimbi bamukolere byagala ate nebalya ndye

Yantumye munyiivu
Nga amaziga gamuyitamu
Ng'oburumi bwalina bambi ajura okweta
Yesiga omuntu
N'omuntu namukakasa
Nawereza ensimbe agure akataka azimbe ku nyumba
Amasimu agamukakasa
N'ebifananyi ebyoburimba
Bambi neyesunga okudda ekka asure ko mu nyumba ye
Naye yagwa ku kyoka
Olunaku lwe yalaga okujja
Oli guy naajako esiimu police yeyataasa
Okutuuka weyamugurira
Nga lutobazi
N'enyumba yegeyege katono yewe obutwa

Kiruma, Mukola bubi ababa sente z'omuntu we kyeyo
Gwe buuza ababerayo
Buuza ku ffe abatuseeyo
Nembeera y'obudde yooka yooka ekuwunza bubi
Abantu be yabaleka
Nakolera mu kiwuubalo ekingi
Amazima amala n'omwezi nga tayogedde ku lurimi lwe

kubamu plan naawe
Nga waava ewamwa nogenda ku kyeyo
Nga n'olusi watunda na kabanja ogaziye liziki
Ne baano tebakuyamba
Omaze okuzifuna basonze ha!
Olukuba akasiimu oti nebakuyiira ebizibu
Noweereza esente zo
Zojje mumanyo g'empisi
Oli naada mu kweraga kale kiruma
Noweereza esente
Bakuzimbire enyumba
Nebakuweereza ebifananyi nga teriyo
Noweereza esente
Owerere omwana wo asoome
Nebabiza mu kweraga kale kiruma

Biruma, Mukola bubi ababa sente z'omuntu we kyeyo
Gwe buuza ababerayo
Buuza ku ffe abatuseeyo
Nembeera y'obudde yooka yooka ekuwunza bubi
Abantu be yabaleka
Nakolera mu kiwuubalo ekingi
Amazima amala n'omwezi nga tayogedde ku lurimi lwe

Mukola bubi Mukola bubi okuba sente za banamwe (bantu mwe mukola bubi)
Abe Dubai bagambye America ne Germany boona boona bagambye (banange mukola bubi)
Abe Sweden Netherland Denmark boona boona bagambye (bantu mwe mukola bubi)
Abe China ne Saudi Cuba ne Rwanda boona boona bagambye (banange mukola bubi)
Abe UK Norway Japan France ne Italy bagambye (bantu mwe mukola bubi) 
Mubakola bubi nemumanyira n'okudda ewabwe (banange mukola bubi)
Mubakola bubi nemubaleka n'okudda ewabwe (bantu mwe mukola bubi) 
Mubakola bubi Mubakola bubi nemumanyira n'okudda ewabwe (banange mukola bubi)
Mweddeko mweddeko mweddeko (bantu mwe mukola bubi) 
Abange mweddeko mweddeko mweddeko (banange mukola bubi) 
Ekyeyo kimenya mweddeko mweddeko (bantu mwe mukola bubi)
Ebulaya wanyiga mweddeko mweddeko (banange mukola bubi)