0:00
3:02
Now playing: Chai We Njaye

Chai We Njaye Lyrics by Omutume Planet


Hello
Naye baana mmwe!
Dropper
Dropper Beats
Yenze, Fire Boy Planet eh

Twagenze n’abaana b’e Gaaza (eeh)
Okuziika Che (chairman)
Matugga nno si Mombasa (eeh)
Gye baziika Che (chairman)
Bw’omanyi efujjo ly’e Gaaza
Atiko wano ne munne Musuuza (tunyumize)
Baabamazeeko omuceere
Nebakwata enjaga nebassa mu chai (eh!)
Kati olumbe lucankalanye
Buli muntu ku lumbe ali so high
Wulira amaanyi g’enjaaye
Nze nkulabira amaanyi g’enjaaye, ah
Owaaye muto wange

Ffe tuli eno ku lumbe (ku lumbe)
Chairman yafudde (yafudde)
Naye vibe ekutte bitya! (eeh)
Omwana yalunze chai w’enjaaye
Chai w’e?
Omwana yalunze chai w’enjaaye
Naye baana mmwe!
Chai w’e?
Omwana yalunze chai w’enjaaye

Aah, nsoose laba nyazaala
Nyazaala ng’akuba butterfly (nentya!)
Ŋŋenda olaba sezaala
Sezaala atambuza mikono nga nte (nentya!)
Obwedda namwandu akaaba
Mpuliranga, ah Sheebah y’ayimba (eryo sada)
Obwedda abasajja bakaaba
Mpulira nga, baseline (eyo njaaye)
Ate kyatuuse na ku nze
Obwedda mmanyi nti nno tuli na UK (eeh!)
Nti tugenze kuziika
Kuziika ono Queen Elizabeth (vvaawo awo)
Atiko by’obadde oyagala
Tiko sikusanga e Kampala ah ah (Atiko)
Atiko by’obadde oyagala
Atiga Atiko sikusanga e Kampala ah ah

Ffe tuli eno ku lumbe (ku lumbe)
Chairman yafudde (yafudde)
Naye vibe ekutte bitya! (eeh)
Omwana yalunze chai w’enjaaye
Chai w’e?
Omwana yalunze chai w’enjaaye
Naye baana mmwe!
Chai w’e?
Omwana yalunze chai w’enjaaye

Olwo tulinda omupaatiri
Ajje asabire omugenzi tumusiibule ah
Nga zireeta omupaatiri
Tugenda okulaba nga Chris Brown ah
Ng’akoleeza akayimba
Ku zino ezimu ezisiibula abagenzi ah
Wabula yatukubye vibe
Fenna mu tent ne tuwunya vibe
Oliira otya mu sowaani yange?
Oliira otya mu sowaani yange?
Owaaye oliira otya mu sowaani yange?
Oliira otya mu sowaani yange? (ah!)

Ffe tuli eno ku lumbe (ku lumbe)
Chairman yafudde (yafudde)
Naye vibe ekutte bitya! (eeh)
Omwana yalunze chai w’enjaaye
Chai w’e?
Omwana yalunze chai w’enjaaye
Naye baana mmwe!
Chai w’e?
Omwana yalunze chai w’enjaaye