0:00
3:02
Now playing: Katonda Wabanaku

Katonda Wabanaku Lyrics by Pastor Wilson Bugembe


Paddy Man, sabula endongo
Kayimba ka leero nnyimbira banaku
Mwana wa munaku semberako kumpi
Kayimba ka leero nnyimbira ba eh?

Ba celeb ba kuno abasinga baali banaku
Abanene ba kuno abasinga baali banaku eh!
Baava ku bugaali ne bavuga Beamer
Ng’oggyeko Navio abalala twali banaku
Olaba ne Museveni (yali munaku)
K’abe Bobi Wine (naye yali munaku)
Semakula Mesach oliwa? (nti yali munaku)
Kenzo babuulire (yali munaku nnyo)
Dawudi Lutalo e Luweero gyoli (yali munaku)
Ne Sheebah ababuulire eh (yali munaku nnyo)

Naye Katonda w’abanaku akola
Ddala Katonda w’abanaku akola
Oh Katonda w’omunaku akola eh!
Katonda w’abanaku akola
Yeggwe ataleka munaku Mukama
Ddala Katonda w’abanaku akola
Oh Katonda w’abanaku akola tuyimbe
Katonda w’abanaku akola, eh!

Bw’ompita ku party essowaani ntikka lusozi
Temunsekerera kubanga nnali munaku
Bwe nkuba embogo mukwano tonsekerera
Lulimi lw’abasoma nalwo nduyize bukulu
Ne bwe ntuula mu nnyonyi nze ntuula kkadirisa
Tekiriiko na kubuuza ffe twava mu nnaku
Eh maama wo ne taata (baali banaku)
Eh abagagga boomukibuga (baali banaku nnyo nnyo)
Ssebalamu oba Kirumira (yali munaku)
Eeh eeh eh (baali banaku nnyo)
Musumba Kayanja (yali munaku)
Eh Pastor Kiganda (naye yali munaku nnyo nnyo)
Musumba Sennyonga (nti yali munaku)
Pastor Serwadda (nti yali munaku nnyo)
Eh Musumba Tom (yali munaku)
Pastor Bugembe (naye yali munaku nnyo nnyo nnyo)
Pastor Bujingo (nti naye yali munaku)
Ne boss wo ku mulimu

Naye Katonda w’abanaku akola
Ddala Katonda w’abanaku akola
Oh Katonda w’omunaku akola eh!
Katonda w’abanaku akola

Oh nnyo nnyo nnyo oh
Spice!

Ofunangayo akadde ne nkulojjera (eh)
Ennaku n’ebizibu bye nayitamu (eh)
Nnali bubi, tondaba kugejja matama (eh)
Nasulako ku budeeya e Kabalagala
Nze natamwa muwogo kubanga nalya muwogo
Kawunga ka kuno e Kenya bakayita ugali
Katonda w’abanaku kyaterekera, tekitera kuvunda
Eh tekitera kuvunda
Kasita teweetuga lulikya n’akutikkula
Eyansumulula, y’alikusumulula

Paddy Man, sabula endongo (eh)
Kayimba ka leero nnyimbira banaku (eh)
Mwana wa munaku semberako kumpi (eh)
Kayimba ka leero nnyimbira ba eh?
Yeggwe ataleka munaku Mukama
Ddala Katonda w’abanaku akola