0:00
3:02
Now playing: Ndinyuka Ntya Omulimu Ekkula

Ndinyuka Ntya Omulimu Ekkula Lyrics by Paulo Kafeero


Muli mbula okuyunguka ezziga
Era nsiiba nkutte ku ttama
Gw’olaba nze n’oneesiimya
Okutunula ng’afuuyirirwa ssupu
Bwe kuba kugaziya nfuna
Nafubako neneekemba
Nange nfuneko we neeyabiza
Naye ebyange biwereba ensonyi
Ndinnyuka ntya omulimu ekkula?
Nga nnyanjala engalo mu bataayi
Mpoze byasalanga busazi
Kuliba okubaganya entama!
Kw’olwo gulibeera mugomyo
ŋŋamba lwe ndiwummuza guitar
Abaliyingira mu kasenge mwendiba
Okusanga nga nkutte ku ttama!
Lyo erinnya lyanfudde wa bbeeyi
Ne mu bamanyi mpitwa ssebo
Era musasule mundabe
Nemumbalira omudidi gw’ennusu
Ziri ludda wa nno baana ba ssebo?
Kambuuze ng’omusirusiru
Ye ate tuzibala nammwe?
Leero byonna biwereba ensonyi

Mukama ebifunwa abigaba ngeri ye
Nkumu abafuula egy’obwa nampala
Mwattu ate nebannyuka sseke
Ky’ekita kati mwenvuyira
Nze okusula nga nkyaŋŋanya enkoba
Nebukya ng’omulo gumbunya miwabo
Munnange kwekwo okunnyulwa enjuba
Nga kyokka bambi weeyuza nkuta!
Gwo ogwa guitar gwegombesa njolo
Bakimanyi tuyoola za bbule
Bw’ogattako eminyiriro mwe tuba
Gujabagira mu balabi
Nze kati ninga mulwadde wa jjute
Bwerintujja nkwata ku ttama
Ssebo lirikula mpolampola
Bweriritulika mulindaba
Zziga ly’ekisajja baana ba ssebo
Liba lya kyebonere ddala ddala
Nze nsuubirayo aga jjulujjulu
Luli mu maturika g’ejjute
Omulimu guno kirombe kya ssanyu
Eritiiriika ng’omubissi gw’enjuki
Era abagukola bwetuteezizibe
Tulyekanga tugunnyuse sseke
Nze ate bannange ekintu ekinnuma
Kwekunteebeza kye sinafuna
Mbu mmwe bannaffe mwagwa mu bintu
Sso nga n’akayumba nkyakapangisa!

Ab’emikwano mbadde na njolo
Bwe tujaganya mu nsonda z’essanyu
Mu ngeri eno oba engeri endala
Ebintu bwe tukwanya obissa mu nkola
Nga bwe tusalawo kusenvula mubissi
Ffe ng’ennyonyi zitukungula empeke
Nga biwanga by’ebitunnyula
Naye sso ssi bufunda bwa nsawo
Kale ne plan mbadde na nkumu
Naye zonna zikoma mu kkubo
Zindeeta n’endowooza ey’ettama
Nti oba ndiko ekizibu ekijja na mpewo
Ddala nkiraba nnyongera kkula
Naye ndaga ki mu maaso ga ssebo?
Kuba naye atunudde mu kkubo
Eyazaala ate n’aweerera
Kati nkyali mulenzi wa ndasi
Era nkyewulira mu kifuba
Naye mu nsi mpaawo kibeerera
Kale amaanyi bwe gananzigwa?
Oba nkole ntya baana ba ssebo?
Ensi ensobedde era ndi mu nnaku
Okufuukana nti nessiganyulwa
Nandibaddewo n’akantu akakalu

Oh ndabye nze
Ndinnyuka ntya omulimu ekkula?

Ntunuuliddwa aboogezi enjolo
Buli we mba balingiriza bandabe
Nebambalirira ne mu nfuna
Era bo omugatte bafuna gwa ndasi
Kukula kwetta kyenje nkirabe
Laba n’obwana bweyongera kuwera
Bwonna amaaso butadde ku daddy
Nze ntuuse n’okufuuka mu colour
Ye ani aloga nze baana ba ssebo?
Ng’ensimbi nginoonya ppaka ku nsalo
Okunnyuka nga nkomba bibatu
Bino binaabaamu n’engeri endala
Ebintu byange okuziŋŋamma empola
Ababyonoona ng’atabyagala
Nebamala nebanduulira n’eyo
Ddala aloga nze tanassa mbugo!
Olukunya oluli ku batya okola
Ndugeraageranya na lwa nkima
Ne kyeteerye ekikunyaakunya
Okukungula byemutaasiga mulabye nnyo
Neeriranya abasimbi b’enseke
Nga n’agamu ganyazi ddala
Ne lwe ssibaawo bampita ebbali
Nensanga ebyange nga gabigoye
Mukama osaana olamuze bwenkanya
Ku baliimisa ebituusize ssebo
Abatusimbamu enseke ekirabbayi
Batukubire bbalaayi bafiire mu bulumi
Omanye nti okufuna kibeera kitone
Era ye Omukama akigaba mu ngeri ye
Na buli alina emikono asaanira kola
Ssi kusitama we balya ngeri ya bu ppusi
Kati ge ndira ngasaza bibatu
Lw’abantu ng’abo bennyininnyini
Naye bonna kambakwase Mukama
Nnyini byonna alibannamulira
Nga nvuyidde mu muzannyo gw’okkola
Kyokka nga ne ggoolo nengera gyeri
Ntuula n’ewange nenneewunika
Bannange ndinnyuka ntya omulimu ekkula!
Sikyanenya balemera ku bibuga
N’abamu kuzaayira ku mawanga
Akubyamu kyaliragwa mu maaso g’enkumu
N’aguma nebatuusa na kuzza njole

Ku line y’abafuna nasibye kkira
Ndi ku bukunkumuka nswadde ne guitar
Bigwanamu okuseesa ku mpale
Ndaba ng’agakyali amabaga
Ntubidde mu birowoozo enjolo
Abanneesiimisa ndaba nkumu
Kyokka mbuliddwa akantu akakalu
Ddala mbula okuyunguka ezziga
Ndinnyonnyola ani gwendimatiza?
Gwendituuza n’antega okutu
Neerogozze byasalanga busazi!
Kuliba okubaganya entama

Ani aloga nze?

Ne mu bennyamba nafuuka mulabe
Olumala obajuna nga bankuba kkabba
Nga bannyanika nga bwe baagala
Naye byonna kambikwase Mukama
Mmwe be nnyonja okuva ku bitogi
Ki temujjukira bigatto mwe mwali?
Nemwekomako ebigambo enkumu
Bye munkonjera kuba mbajja wala
Be nnyamba nafuuse mulabe
Olumala obajuna nga bankuba kkabba
Nga bannyanika nga bwe baagala
Naye byonna kambikwase Mukama
Be mpeeweeta okuva ku bitogi
Ki temujjukira bigatto mwe mwali?
Nemwekomako ebigambo enkumu
Bye munkonjera kuba mbajja wala