0:00
3:02
Now playing: Slay Farmer

Slay Farmer Lyrics by Pia Pounds


Hmmm, hmmm
Hmmm, hmmm
Hmmm, hmmm
Hmmm
Dicotyledonous
Team Fresh

Yeggwe kibala ekyaviirako Adam okukemwa Kaawa
Waaliba gwe Eden nga Mukama yakitukweka
Ebibala byo byabala buli abiraba atenda baaba
Ngezezzaako okukwewala
Ne bwe neekweka era onnoonya
Kuba ebbuba simanyi kulifuga
Bwe nkulaba n’omulala ne nkutuka
Ne bwe mba mu suit ombinusa
Nkoko ya mutamiivu nkeesa lukya
Ebinyuma gw’amanyi okubikola
N’ebitanyuma era obinyumisa!
Akamwenyu
Oh mmwenyezaamu, uuh yeah

Njagala nkwerabize bali abaasooka
Beera nange bwe twatta ekyama
Njagala nkwerabize bali abaasooka ate
Beera nange bwe twatta ekyama
Ekyama ekyama (uh le le maama)
Slay Farmer (uh le le)
Ekyama ekyama (uh le le maama)
Slay Farmer (uh le le)
Ekyama ekyama (uh le le maama)
Slay Farmer (uh le le)
Ekyama ekyama (uh le le maama)
Slay Farmer

Engeri gy’okabala otyo tekabalwa balala
Eno ettaka ggimu ebibala suubira kunoga, yeah
Bw’olibiryako toliyoya walala
Kano kaffe cce darli kakuume nga kyama, yeah
Oli kitundu ku nze
Neekutte ku ggwe
Ninga ng’atamidde
Love yo endaludde
Endaludde
Kuba ebbuba simanyi kulifuga
Bwe nkulaba n’omulala ne nkutuka
Ne bwe mba mu suit ombinusa
Nkoko ya mutamiivu nkeesa lukya
Ebinyuma gw’amanyi okubikola
N’ebitanyuma era obinyumisa!
Akamwenyu
Oh mmwenyezaamu

Njagala nkwerabize bali abaasooka
Beera nange bwe twatta ekyama
Njagala nkwerabize bali abaasooka ate
Beera nange bwe twatta ekyama
Ekyama ekyama (uh le le maama)
Slay Farmer (uh le le)
Ekyama ekyama (uh le le maama)
Slay Farmer (uh le le)
Ekyama ekyama (uh le le maama)
Slay Farmer (uh le le)
Ekyama ekyama (uh le le maama)
Slay Farmer

Oli kitundu ku nze
Neekutte ku ggwe
Ninga ng’atamidde
Love yo endaludde
Endaludde