0:00
3:02
Now playing: Akafo Kali

Akafo Kali Lyrics by Princess Amiirah


Hmmm
Oh maama maama
I surrender to you

Mukama Katonda nzize okwetowaza, uh yeah
Nkusobezza emirundi mingi
Kuba ndi mwana wa muntu
Maze ebiseera bingi
Nga mbuusabuusa nti amazima oba toliiyo
Olumu nalowoozanga
Nti oba maama ye yali Katonda wange
Naye lwe wamutwala
Namanyirawo olwo
Nti amazima yeggwe abasinga

Bw’oliba ontwala
Mu bwakabaka bwo ntwala
Naye akafo kali
Mwe bayimbira nga bakutenda
Mwemba ŋenda
Bw’oliba ontwala
Sitidde ntwala
Naye akafo kali webakusinziza
Wemba ŋenda, nkusinze

Edda natyanga nnyo, okwebaka
Nga muli ndowooza
Nti oba sidde, nali mutiitiizi
Naye okufa kwe kwakimmanyisa
Nti Katonda yasalawo
Gwe ne bw’okola otya ne weekweka
Nga yagambye, nti tosigala
Ekyo nno ffe tukiyigamu ki?
Oluzuukuka ku makya
Wewakomye okutulugunya banno
W’otandikira, n’ojooga
Yiiyi ensi eno!!!

Okusiima kwange
Noonya engeri gye nkukulaga
Kubanga wasalawo
N’ompa amakula, okuyimba
Kubanga kinyambye nnyo
Ebizibu lwe binnyinga
Buli lwe nkaaba ne nnyimba
Omutima, ne gudda bujja
Manyi ensi eno tentegeera
Ne bye nnyimba tebimanyi
Naye manyi, gwe omanyi
Oluyimba, nduggye mu ntiisa

Hmmm
I surrender to you