0:00
3:02
Now playing: Stellah

Stellah Lyrics by Sama Sojah


Oliwa Stellah? (oliwa?)
Komawo tunoge amapeera (oliwa?)
Sama Sojah (oliwa?)
Chemical Beats na na na

Amundabiddeko Stellah mugambe nfa
Okuva lwe yagenda ssefeelinga
Nasigala awo bwentyo nga neebuuza
Ani eyasigula Stellah eyamwerabiza?
Munoonyezza e Ntinda (tewali)
Munoonyezza e Mbale eyo (tewali)
Munoonyezza e Mbarara (tewali)
Karamoja natuuka dda (tewali)
Eh yo Stellah
Mutima gwange tegulikukyawa

Kyakuwa mbu yakusanga ku kisaawe e Kenyatta
Wandiba wafuna akalimu
Oteranga n’oddako eno nnyabo (nnyabo)
Nsuulira omwoyo obw’olumu (nnyabo)
Nze amapenzi gannuma simanyi kya kola
Ninga omulwadde kanzunzu
Oteranga n’oddako eno nnyabo
Nsuulira omwoyo obw’olumu

Herbert Skillz pon dis one

Munoonyezza e Ntinda (tewali)
Munoonyezza e Mbale eyo (tewali)
Munoonyezza e Mbarara (tewali)
Karamoja natuuka dda (tewali)

Stellah maama ambuuza nti nno wadda wa?
Naye kale ne neebuzaabuza
Ntya nnyo tandowooleza nti nakubonyabonya
Empisa ne zikunnemya
Stellah taata ambuuza nti nno wadda wa baby?
Naye omukwano gwesiba
Ntya nnyo okwogera ebigambo tebirinsimattuka
Amagezi ne gatanjuna
(Gano amagezi ne gatanjuna)

Naye oliwa naye Stellah? (oliwa?)
Komawo tunoge amapeera
Wadda wa ennaku zino nnyabo? (oliwa?)
Obeera wa naye Stelah? (oliwa?)
Komawo tunoge amapeera
Oliwa maama mbuuza? (oliwa?)
Wadda wa naye Stellah? (oliwa?)
Akawoowo ka Stellah (oliwa?)
Kandi ku pillow nkawulira (oliwa?)
Wadda wa naye Stellah? (oliwa?)
Zion K naye akubuuza (oliwa?)
Ffe tetukyebaka
Komawo ewaka
He he he
Lyrical Senator you know