0:00
3:02
Now playing: Simuta

Simuta Lyrics by Sasha Brighton


Buli kimu ekyange nsobola okukireka
Naye ku gwe ndayira obutagenda baby
Kabaseke obukule bakube (hmmm)
Ono owange simuta
Buli kimu ekyange nsobola okukireka
Naye ku gwe ndayira obutagenda baby
Kabaseke obukule bakube
Ono owange simuta

Naye neebuuza oba natandika ntya!
Okwagala gwe n’okusinga abanzaala
Laba oli munnyo mu lunch yange
Era akaloosa, mu chai owokumakya
Ngugumuka ekiro, nga ndoose bakuntutteko
Ne mmera olutiko ate nga ndaba wooli
Ndikuddawa, nsika ssebo teeka mu lyato
Ntwala, ebyange munnange byonna bibyo

Buli kimu ekyange nsobola okukireka
Naye ku gwe ndayira obutagenda baby
Kabaseke obukule bakube (hmmm)
Ono owange simuta
Buli kimu ekyange nsobola okukireka
Naye ku gwe ndayira obutagenda baby
Kabaseke obukule bakube
Ono owange simuta

Ebisulo, ebyansulanga ku liiso
Byali bya ssanyu ssi maziga
Kituufu wambikkula obwongo
Babe, you make my life complete
He he he, he he he
Kati jangu tuzannyemu
Omupiira oba twepenemu?
Kale oba tutambulemu
Oba tugende tuwugemu?
Nga tewali atukuba ku mukono
My baby nsika
Eky’amazima sikuta, ha haaa

Omukwano gummezze
Laba bwe mpunze
Yeah eeh, nnyamba bambi tonta
Kati labayo bwe nanaagira
Na na na na nanaagira
Olulimi telukyatambula
Omutima gwe gumbuulira
Kuba buli kimu nsobola okukisaddaaka kululwo
Tewali kye nsobola ku comparinga
N’omukwano gw’ompa babe
Sigala wendi, wano

Buli kimu ekyange nsobola okukireka
Naye ku gwe ndayira obutagenda baby
Kabaseke obukule bakube (hmmm)
Ono owange simuta
Buli kimu ekyange nsobola okukireka
Naye ku gwe ndayira obutagenda baby
Kabaseke obukule bakube
Ono owange simuta