0:00
3:02
Now playing: Kimansulo

Kimansulo Lyrics by Sheebah


What!!! (aaah!)
Sheebah (haaa!)
Eno Beats (haaa!)
TNS (he)
Buli kye nfuna n'onyiiga n'ozimba
N'oba ng'omupikemu omukka
Ojja kukkakkana
Ne bwe nfuna akasente
Ne ngulayo akagatto akapya
Nakyo onyiiga
Wano nafunamu ku nsimbi
Ne ngulayo akapoloti eyo
Ojja kukkakkana
Naye wanyiiga watuggubala
N'otuuka n'okubeera nga tokyabuuza
Kakkana
Kimansulo ku mimwa
Olina ekimansulo ku mimwa
Ojja kukkakkana
Oyogera nnyo
Kimansulo ku mimwa
Nkulaba ozunza embaliga mu lugambo
Kakkana
Kimansulo ku mimwa
Olina ekimansulo ku mimwa
Ojja kukkakkana
Oyasama nnyo
Kimansulo ku mimwa
Nkulaba ozunza embaliga
Kakkana
Nze nakula sirwana
Nga ne bw'onvuma siyomba
Ne maama anjulira
Ne ku kyalo ba neyiba nga bantuma
Ebintu ku maduuka nga mbaleetera
Bano abakadde abateesobola
Abantu bakateeyamba
Amazzi nga mbasombera
N'ekyampeesa obwa Head Girl
Eyo ku ssomero, zaali mpisa
Nabakako omupiira naye nze naguvaamu
Nga sifunye ku kaadi yadde
Nga ne bw'oba ogenda kuteeba
Sikutega afazaali nkuleka n'oguteeba
Naye eno gye nsanze abalina emitima
Emigumu egisinga ne ku byuma
Nga ne bw'omugamba
Nze ndeka asigala afumita, eh wo!
Kimansulo ku mimwa
Olina ekimansulo ku mimwa
Ojja kukkakkana
Oyogera nnyo
Kimansulo ku mimwa
Nkulaba ozunza embaliga mu lugambo
Kakkana
Kimansulo ku mimwa
Olina ekimansulo ku mimwa
Ojja kukkakkana
Oyasama nnyo
Kimansulo ku mimwa
Nkulaba ozunza embaliga
Kakkana
Nti Katonda y'angabirira
Era nkusabire otegeere
Buli kye nina mukisa gwange, eh eh
Njagala nkusabire otegeere nti eggyi ly'enkoko
Tolyasa ate n'osangamu mbu mbaata
N'ekisuku ky'akanyonyi tolisangayo
Ssekkoko ng'ebiika, aah ah
Njagala okimanye neyiba
Era okakkane omutima
Otuule osensinge olowooze nti Katonda y'omu
Kati ompalanira bwereere eh wo
Kimansulo ku mimwa
Olina ekimansulo ku mimwa
Ojja kukkakkana
Oyogera nnyo
Kimansulo ku mimwa
Nkulaba ozunza embaliga mu lugambo
Kakkana
Kimansulo ku mimwa
Olina ekimansulo ku mimwa
Ojja kukkakkana
Oyasama nnyo
Kimansulo ku mimwa
Nkulaba ozunza embaliga
Kakkana
Gwe anyiigira ebirungi ebitali bibyo ngeri ki?
Wakula ngeri ki?
Nakunyiiza kuva mu buto era tonsonyiwanga?
Really! Wakula ngeri ki?
Olimirira banno wa ngeri ki!
Abasajja b'osigula oli wa ngeri ki?
Ye nkubuuza nze onnanga ki?
Onnumbye nnyo gundi oba onnanga ki?
Buli kye nfuna n'onyiiga n'ozimba
N'oba ng'omupikemu omukka
Ojja kukkakkana
Ne bwe nfuna akasente
Ne ngulayo akagatto akapya
Nakyo onyiiga
Wano nafunamu ku nsimbi
Ne ngulayo akapoloti eyo
Ojja kukkakkana
Naye wanyiiga watuggubala
N'otuuka n'okubeera nga tokyabuuza
Kakkana
Kimansulo ku mimwa
Olina ekimansulo ku mimwa
Ojja kukkakkana
Oyogera nnyo
Kimansulo ku mimwa
Nkulaba ozunza embaliga mu lugambo
Kakkana
Kimansulo ku mimwa
Olina ekimansulo ku mimwa
Ojja kukkakkana
Oyasama nnyo
Kimansulo ku mimwa
Nkulaba ozunza embaliga
Kakkana