Twatandika mpolampola luno olugendo Nga tetumanyi kiki era ekiribaawo Twali baavu naye twalina omukwano Ne tuguma, ne tutaganya bigambo Mu kayumba kaffe kali ak’e Mpigi Ng’ekyobugagga kye tulina kawagi Nga n’akagomesi sikagula kuyiiya Oh oh, n’oguma n’ofumba Gye nali nkola nafunanga bbiri Nga n’okuzifuna waayitanga kkumi Naye gwe n’oguma n’ondaga omukwano Ogutakyuka ogutalina bukuusa oh Kisaati waabwe Abaali banjogerera bafudde Bagambe nti byonna bikyuse Atalina wuwe aweeke ejjinja ooh Kisaati waabwe Abaali banjogerera bafudde Bagambe nti byonna bikyuse Atalina aweeke ejjinja Amazima naye ddala nz’ani! Eyali talina yadde ka pulaani N’onzikiriza olekewo ba Makanga! Nga Makanga yalina n’akaduuka Walaayi kye nsuubiza eh Sirituuka ne nkwefuulira eh Olw’obusungu oba ne nvuma Ndibeerawo era ndiba mwesigwa ooh Kisaati waabwe Abaali banjogerera bafudde Bagambe nti byonna bikyuse Atalina wuwe aweeke ejjinja ooh (ejjinja) Kisaati waabwe Abaali banjogerera bafudde Bagambe nti byonna bikyuse Atalina aweeke ejjinja, ooh (ejjinja) D-Records Producer Renix Nkukwasa bulamu nze sirina kalimba Sirina Beamer, sirina bugagga Naye nga mukwano nasalawo Omutima laba ne nguwaayo Ndikuggya wa akusinga empisa? Akwagala naatakuteeka mu ccupa Abasinga omukwano bagulunga Olaba kugonda kumbe bakulunga oh Walaayi kye nsuubiza eh Sirituuka ne nkwefuulira eh Olw’obusungu oba ne nvuma Ndibeerawo era ndiba mwesigwa Kisaati waabwe Abaali banjogerera bafudde Bagambe nti byonna bikyuse Atalina wuwe aweeke ejjinja ooh Kisaati waabwe Abaali banjogerera bafudde Bagambe nti byonna bikyuse Atalina aweeke ejjinja Nkukwasa bulamu nze sirina kalimba Sirina Beamer, sirina bugagga ooh Kisaati waabwe, aweeke ejjinja ooh Mu kayumba kaffe kali ak’e Mpigi Ng’ekyobugagga kye tulina kawagi ooh Kisaati waabwe, aweeke ejjinja oh Nkukwasa bulamu nze sirina kalimba Sirina Beamer, sirina bugagga ooh Kisaati waabwe, aweeke ejjinja ooh Mu kayumba kaffe kali ak’e Mpigi Ng’ekyobugagga kye tulina kawagi ooh Kisaati waabwe, aweeke ejjinja ooh!
Show more