0:00
3:02
Now playing: Ekisa Ekinondoola

Ekisa Ekinondoola Lyrics by Sylver Kyagulanyi


Ndi ndiga etayawula muddo
Oluusi ndya buli
Naye ekisa Kyo era nekinkuuma
Nga akaweewo akanuuse obugere
Wakati mu mpologoma
Naye ekisa Kyo era nekinkuuma
Waliwo ekisa ekinondoola kyeneewunya
Okuva obuto bwange
Mukama omukono Gwo ngulabye
Ekisa ekinondoola
Ekitaŋanya era kugwa
Ekisa ekyo kyenekola kintuuse eka
Waliwo ekisa ekinondoola kyeneewunya
Okuva obuto bwange
Mukama omukono Gwo ngulabye
Ekisa ekinondoola
Ekitaŋanya era kugwa
Ekisa ekyo kyenekola kintuuse eka
Nali muzibe
Ng'ebyensi ey'omwoyo sibimanyi
Naye ekisa Kyo era nekinkuuma
Nali muto
Nga ndaba omusota nensembera
Naye ekisa Kyo era nekinkuuma
Waliwo ekisa ekinondoola kyeneewunya
Okuva obuto bwange
Mukama omukono Gwo ngulabye
Ekisa ekinondoola
Ekitaŋanya era kugwa
Ekisa ekyo kyenekola kintuuse eka
Waliwo ekisa ekinondoola kyeneewunya
Okuva obuto bwange
Mukama omukono Gwo ngulabye
Ekisa ekinondoola
Ekitaŋanya era kugwa
Ekisa ekyo kyenekola kintuuse eka
Ndaba ndiga
Naye ng'emisege gyemingi
Gyambadde amaliba g'endiga
Giri mu kusolobeza okundya
Laba ekisa bwekimbalula
Kimpisa ku mumwa gw'empiri
Laba bwekitegulula emitego
Ekisaaa...
Waliwo ekisa ekinondoola kyeneewunya
Okuva obuto bwange
Mukama omukono Gwo ngulabye
Ekisa ekinondoola
Ekitaŋanya era kugwa
Ekisa ekyo kyenekola kintuuse eka
Waliwo ekisa ekinondoola kyeneewunya
Okuva obuto bwange
Mukama omukono Gwo ngulabye
Ekisa ekinondoola
Ekitaŋanya era kugwa
Ekisa ekyo kyenekola kintuuse eka