0:00
3:02
Now playing: Bombclat 6

Bombclat 6 Lyrics by Ykee Benda ft. St Maxi Mayne


Bad guys
Afro Rapper number one
Ykee
A Saint
Nessim Pan Production

Mayne
Mbu tova mu mboozi za Mun G na Kemishan
Buli musajja omuwa signal weefudde kisowaani?
Ewuwo tewava gun talk gy’oli wa Beenie!
Mbu buli omu omuwa VIP treatment
Discount ku bagenyi
Bangi bakaaba obasudde mu kajjampuni
Omwo mw’obbiririra agaaso ng’akubiddwa bi plane
Ogira onyumirwa okwambuka bw’okkirira nga elevator
Bomboclat okulowooza buli kimu kiri ku ssente nga Kenyatta

Ykee Benda
Bomboclat to the bad mind there
Bomboclat hmmm
Bomboclat to the bad mind there
Bomboclat, bomboclat
Ba mulyabuto bomboclat
Every lazy citizen bomboclat
Lazy politician bomboclat
Nammwe abatasasula bomboclat

Mayne
Eyampeereza omukono nga ndi mu kinnya kya fuuti ana
Kyokka n’ogaana okunkasukira omuguwa gwe walina
Nali nkuwa ekitiibwa kuvunamira nga Kabba
Kumbe wali ontega bumasu ondippe nga mbeba!
Bomboclat alwana olugero lwa hip hop lube lumpi
Gwe nkufaananyizza omugaso gwa T.P
Leero nazze kukalubya mu nsonga nga moral concept
Mwalinnye ya lieutenant tobuuza akoocinga bunduuki
Bomboclat sugar mummy omukadde
Nga naawe ako akalenzi okimanyi okamalira budde
Santaclata azoleyo flow rapper baaba
Kuba kye nkuba ne ba muzibe bakiraba
Tafmuclat pedestrian ne bu chali obweyerusa
I’ve got fordines to know where buuza Marcelo Bielsa
Bomboclat ex eyansiibyanga ku puleesa
Nga kati you seek chemotherapy nga mulwadde wa cancer
Bomboclat azoleya omwana w’essaka
Kati tunula kino nkitwala paka mpaka
Bomboclat ba frenemy bwe tubeerawo abatupika
Bwe tubakubira munyiga silent nga Pele mu lusirika
They are the da damn killer
Fire dem like a shutter killer
Nga gwe abafumbo n’abawuulu mwafuuka kisekererwa
Obutava mu ntebe mwatusiba katambula?

Ykee Benda
Bomboclat to the bad mind there
Bomboclat hmmm
Bomboclat to the bad mind there
Bomboclat, bombo clat
Abasabiriza
Bomboclat
Mutukola bubi
Bomboclat
Ba pastor abafere
Bomboclat
Mukiyiye nnyo
Bomboclat

Mayne
Gwe politician lwaki totubalaamu magezi?
Ojula kutuwa biwata kuba kirabika otuyita mbuzi
Wewombeeka mu kampeyini kati otutuntunza butuntuzi
Twayagala mukulembeze wafuuka mufuzi
Engatto zaali zirebera ne tulozooza tufunye obuwuzi
Ebigambo byo byali biwoomu kati bikambagga bukambazzi
Tukulinze okomewo wano ng’otusaba obululu ozunza ettwe
Tujja kulaga lwaki ebigere tebisula mitweetwe
Kabona wa Katonda nga ndaba network yo ebulaabula
Ovuga kanamba kaliko naye endiga zo zisiiba njala
Kale ezo oli ku ndiga naye emicungwa ozikamula
Kuba kati ku Forbes List oli kumpi kulangirirwa
Nsonyiwa bwe mba kale yenze ndiga eyabula
Naye bw’oba oli wa Mukama ddala lwaki otunda essaala?
Nabbi omukulu ku muzuri okyaliko ebyaddala?
Mbuusabuusa blood mazima sikutegeera
Nkimanyi ssebo olina bangi abakugoberera
Bakuvunnamira kirabika ne Katonda baamwerabira
Wakola olutalo n’ebinusu ebiweebwayo bibeera bya mpapula
Oli mu kuzannyira ku bantu balamu naye Katonda akulengera
Oli mufere naye mu linnya lya Mukama mw’otambulira
Simanyi oba okimanyi nti ba Nabbi ab’obulimba Bible eboogera
Lwakuba ssiri sure ku Mukama ky’ali kukola
Naye kirabika kibooko zo akyali wa Byuma aziwagala

Ykee Benda
Bomboclat to the bad mind there
Bomboclat hmmm
Bomboclat to the bad mind there
Bomboclat, bombo clat
Abasabiriza
Bomboclat
Mutukola bubi
Bomboclat
Ba pastor abafere
Bomboclat
Mukiyiye nnyo
Bomboclat
Mayne
A Saint Maxi Mayne
Afro Rappe number one
Eyo kayaazi
B.I.T eh eh eh, lindako
Ki ekiriwo Dawson mwana? Haha
Hey Jose
Gram Switch Musicr