Ekyatuvirako Okwawukana Lyrics by King Fa ft. Cyza Musiq

(Intro)

Wali wansibira mu kizikiza nga siraba mazima
Nga ndowooza nateeba nali manyi wajja na bisima
(I’m trynna kick it with Mr. Miyagi)

(Verse 1)

Omulyango gumu bwe gweggala
Kitegeeza ogumu gubeera gweggula
Wanzigulira ekyo webale
Nafuna lesson
Bwe wangobaganya nayiga okwetegereza
Bwe wansindikiriza nayiga okwegendereza
Mission gye waliko yampa lesson
Eno graduation
Okwenda kiri okay naye wasuka baaba
Tosobola kugatika mukene n’enyama
No no no no, wasuka baaba
Tosobola kugatika mukene n’enyama

(Chorus)

Ekyatuvirako okwawukana obolyayo kyanyambako okwetereza
(Ekyatuvirako okwawukana, kyanyambako okwetereza)
Ekyatuvirako okwawukana obolyayo kyanyambako okwetereza
(Ekyatuvirako okwawukana, kyanyambako okwetereza)

(Verse 2)

Nasanyuka bwe wanzanyisa nkweeka nkukweekule
Nga simanyi nti ogula budde no’oyo mukyekole
Nze eyalwaana amaziga go ngasangule
Wanfuula mulabe eyatoba ababo bawangule
Yali waiter eyantomeza
Lye yansuula ku kifeesi w’ekibuga
Nze eyakwesize omunyago wankuba mbadiya
Navaayo na magi maffu
Right now am better
Nawona eby’okulumwa osula ku machupa
Wali gulaaya ogushuma
Wammalira ssente ng’ebibumba obitumya
Wali wansiba akatambaala ku maaso nga siraba
Sikwekaza sikolima aah
Am glad nakuwona

(Chorus)

Ekyatuvirako okwawukana obolyayo kyanyambako okwetereza
(Ekyatuvirako okwawukana, kyanyambako okwetereza)
Ekyatuvirako okwawukana obolyayo kyanyambako okwetereza
(Ekyatuvirako okwawukana, kyanyambako okwetereza)

(Verse 3)

Walayi motherfucker die
Nali manyi nfunye malaika
Kumbe nfunye makanika katambi ka cinema tuli mu kutalika
Ta nta nta nta
Bali batuufu abalugera
Nti akugoba yakuwa ekubo
Wanyamba okwezuula
Ne bye nakola notasiima
Okusubira ekinene
Kyaali kikyamu wefuula
Nali manyi nti oli mukwano gwange
Kale nakuyala netugabana n’obupale
Tewasala watema nafuna n’olubale
Ate nga baŋŋamba nti wali wa bulabe

(Outro)

Right now am better
Nawona eby’okulumwa osula ku machupa
Wali gulaaya ogushuma
Wammalira ssente ng’ebibumba obitumya
(I’m trynna kick it with Mr. Miyagi)