Baninze Lyrics by Aziz Azion


Mmm mba, mmm mbe
Mmm mba, mmm mbe (Nessim pan production)

Abantu balamu bansobera ddala abalya mmere (bambi)
Babuzabuza kyebagala bwobaddako oba osembye hmm hmm
Gwowonya eggere yalikusambya
Gwolisa bwakuta yakulwana
Bataka nkwenge tebasiima 
Balinda lwoligenda
Lwebalimanya amakulu gewali ovaamu
Bakuwane balemere akazindaalo nga tebigwa malojja byebakusiima
Songa babibuusa nga amaaso

Baninze, baninze nga maze okugenda bampaane
Baninze, bansuute nga sikyategera bekaabye
Baninze, baninze nga maze okuzaawa bampaane
Baninze, bansiime nga sikyabiwulira

Kati naama atandabyemu makulu nga nkya ssa
Tolindanga mu lumbe neweyogeza ebinji nga tebikyayamba
Mu bulamu nabayamba tababiraba
Bankolokota mugongo nga bwembasembya
Mbu nina ogutima (ensi eno!)
Nsiima nga nkyaliwo
Yogera ebingi nga nkyaliwo
Kigasa ki okumpana 
Nga bwenali omulamu wankolokotanga
Mbalaba era mbakeneka
Kirinkola bubi nnyo okamala.... baninze

Baninze, baninze nga maze okugenda bampaane
Baninze, bansuute nga sikyategera bekaabye
Baninze, baninze nga maze okuzaawa bampaane
Baninze, bansiime nga sikyabiwulira

Mukama wange yalwala omusujja
Nga akasente kamuweddwko
Nasaba kubeyawanga obuyambi
Buli omu namusamula eri
Ez'eddwaliro osonda zabalemye
Naye eza case mubwangu zalabise
Gwowonya eggere yalikusambya 
Gwoliisa bwakuta yakulwana
Bataka nkwenge tebasiima
Balinda lwoligenda 
Lwebalimanya amakulu gewali ovaamu
Bakuwane balemere akazindaalo nga tebigwa malojja
Byebakusiima songa babibuusanga amaaso

Baninze, baninze nga maze okugenda bampaane
Baninze, bansuute nga sikyategera bekaabye
Baninze, baninze nga maze okuzaawa bampaane
Baninze, bansiime nga sikyabiwulira

Eeeh
Baninze.. maama
Baninze
Baninze...eeh eeh
Baninze...hmm hmmm


About the song "Baninze"

Steven Nyombi