Dan Magic agambye atya? Guno gw’akubye ssi gwe mbadde nnoonya Naye k’ogukubye nze kanguzannyiremu Sigusuubira kucaaka nnyo Kubanga guno gwe nkubye Ssi gwa mirembe gya kati Mbatutteko mu giri gi P.O. Box Nga twalina ebiwala mwattu ebitiba bitya! Nga k’obigendako obubi obeera waakutya Mbanyumiza omuwala gwe nayagala Yabeeranga Kamwokya ku Community Bamuyita Specioza Nantaba Naye nayagala Spe nze nenserebera Bwakya lumu ye n’anjabulira Nemmwegayirira naye nga tabiwulira Nga ku maviivi nfukamidde Ng’olwo ndaba ebyange byonna biwedde, eh Mu mwoyo nga nzenna nsiridde Yaƞƞamba don’t worry eyo just first feeling
Specioza yankyawa Naye mu byaddala alinga nga eyannyamba Singa yali teyankyawa Sandisobodde funa mukazi ananzimba Specioza wankyawa Naye mu ga Katonda mu ggulu gwe wannyamba Singa wali tewankyawa Sandisobodde funa mukazi ananzimba
Naddamu okumulaba Nga eyali Spe tosobola kumutegeera Ne kennyini teyeetegeera Ewa Jjajja Ibu mu Kimombasa eri eri wansi Gye nasembayo omusanga Mwanamuwala yayiga n’okunywa kabanga Tuli ne bataayi bange Tuli mu swagger tunywa na byaffe tuteredde Yekazizza asembedde Akutte n’entebe ssebo olwo naye akkalidde Olwo ndowooza ng’alaba musaana Ko nze gundi leka tonkuba bikadde Nemmusomera byonna kuva ku bya Jimmy We wanjagalira wali otukyanga ne Chagga Baakumpisangako mu Short Pajero Nze nembonaabona ekiro nga nkaabira pillow Ne ƞƞamba nti sikyalya lwa ggwe N’oƞƞamba don’t worry eyo just first feeling
Specioza yankyawa Naye mu byaddala alinga nga eyannyamba Singa yali teyankyawa Sandisobodde funa mukazi ananzimba Specioza wankyawa Naye mu ga Katonda mu ggulu gwe wannyamba Singa wali tewankyawa Sandisobodde funa mukazi ananzimba
Kati nalaba ekkubo Baali batuufu akugoba y’akulaga ekkubo Bw’akulekawo gwe fuba kulaba ng’okola Luliba olwo n’osisinkana asaanira embaga Gwe manya nti omuntu bw’akukyawa oba okalidde Bwe kaba nga obadde kataala oba ozikidde Bw’akukyawa n’olemerako oba wefudde na ffala Okwagala okkaka omukwano kikubya yala Byantuukako luli mu biseera bya ‘aso’ Kyenva mbiyimbako mbabuuse baana ba ssebo Gw’okaabira ng’amaze okukyawa Oyinza okusanga nga gw’abadde alina omukyawa N’olwekyo sirika tokaaba Nze gamba don’t worry eyo just first feeling
Specioza yankyaawa Naye mu byaddala alinga nga eyannyamba Singa yali teyankyaawa Sandisobodde funa mukazi ananzimba Specioza wankyaawa Naye mu ga Katonda mu ggulu gwe wannyamba Singa wali tewankyaawa Sandisobodde funa mukazi ananzimba