0:00
3:02
Now playing: Obulungi Bunuma

Obulungi Bunuma Lyrics by B2C

Eka we nakulira tewaali basezi
Twazannyanga kakebe nalya ku binazi
Obukwansokwanso, mpafu, namungodi
Kyova olaba nasoboka nakula bunoni
Olujja lwali lugazi nga twayasa nazi
Twakuba nga na dduulu, twali bapimi
Nga taata musiibi ate maama musabi
Ffe b'olaba Katonda yatukuuma bugubi
Eka twali balunzi ate twali balimi
Nga tusiiba ku mata tusula ku magi (yeah eh)

Mundaba kunyirira naye nzigwawo lwa bulungi
Obulungi bunnuma
Mbuwulira ku nkoona, ku matu mbuwulira ne ku ttama
Obulungi bunnuma
Mundaba kunyirira naye nzigwawo lwa bulungi
Obulungi bunnuma
Mbuwulira ku nkoona, mu matu mbuwulira ne ku ttama
Obulungi bunnuma

Eh! Batupimisa ruler nga batutonda
Twakulira ku mapeera na butunda
Chai, wa kisubi anoze akajaaja
Nga ssenga mutunzi y'atukuba ekikumba
Nze gw'olaba mu budde bw'ekiro nga nnaaba gookya
Nga twota ku muliro tuyanika ebikunta
Twakulira wagimu ffe twabala
Twalimanga n'emmwanyi nze nakabala
Ebinyeebwa twabyanika nga tubisekula
Twakulira ku muwogo z'ensusu ze twakola

Mundaba kunyirira naye nzigwawo lwa bulungi
Obulungi bunnuma
Mbuwulira ku nkoona, ku matu mbuwulira ne ku ttama
Obulungi bunnuma
Mundaba kunyirira naye nzigwawo lwa bulungi
Obulungi bunnuma
Mbuwulira ku nkoona, mu matu mbuwulira ne ku ttama
Obulungi bunnuma

Kirinuma okukootakoota buno obulungi bwendiko, bwona bukadiwe
Kirinnuma omukwano gwenyina omukwafu okukaddiwa
Gwonna guyiike
Baatuzaala ku Sunday lwali lweggulo
Ng'ensi nzikakkamu nga balya kyeggulo
Daddy fees yasasulanga mwaka
Homework twakolanga lw'eggulo na maama
Akazungu twasoma ke kano ke tufuuwa
Swi-swi like Ssematimba