0:00
3:02
Now playing: Mwagale

Mwagale Lyrics by Daddy Andre ft. Jamal Wasswa


All that she wants
Is another babe
All that she wants
Is another babe
Andre on the beat

Nawulidde bingi, ebiri makaago eh
Mbu omukyala omuyisa bubi
Omubonyabonya
Toyagala kuteesa
Okuba mukube
Bino ebigambo by’abantu
N’ebitamiiza by’okulembeza
Ddala lwaki?
Ki weeyisa otyo?
Mbuuza lwaki?
Ki weeyisa otyo?

Tolinda bide
Ow’ewuwo mwagale
Nga bwe yetaaga aah
Tomulumya muwe laavu egwanidde
Tolinda bide
Ow’ewuwo mwagale
Nga bwe yetaaga aah
Tomulumya muwe laavu egwanidde

Omukyala asana omuntu ng’amufaako
(ng’amufaako)
Nga tolinda na nviiri, kumusiiwuukako
Lwe yetaaze akagatto akapya
Ng’okamutuusaako
Toyomba, tolwana mukwate ng’ekyatika
Naye gwe waliwo lw’okuba
Wabeerawo ne bw’ovuma
Waliwo bw’omulimbalimba

Munno mukube empeta
Vva mu by’okumulumya
Wamuggya eri omusuubiza bingi
Ate tobituukiriza
Munno mukube empeta gwe guy
Vva mu by’okumulumya
Wamuggya eri omusuubiza bingi
Ate tobituukiriza
Waliwo lw’okuba
Wabeerawo ne bw’ovuma
Waliwo bw’omulimbalimba