0:00
3:02
Now playing: Winner

Winner Lyrics by Gravity Omutujju ft. King Saha


A winner
Oli muwanguzi muganda wange
Am a winner
Topowa toggwaamu ssuubi

Am a winner
I will never be a loser, aah
Naawe oli winner
Topowa tofuuka loser, aah
Naawe omuvuzi wa boda oli muwanguzi
Am a winner
Avuga boda ekiro mu mpewo
Ng’onoonya ezibeezaawo amabujje
I will never be a loser, oh no
Asindika ekigaali naawe oli muwanguzi
Naawe oli winner
Avuga takisi ne kondakita muli bawanguzi
Topowa tofuuka loser, aah
Temuggwaamu ssuubi

Kano nkayimbye nkajja ku mutima
Nange neebuuza nze ani wamma?
Gwe baavuma mbu nfaanana enkima
Kati nkuba shows ne ziwuuma
Nga nasomba scrap n’ebyuma
Ng’abalala bagamba ncuuma
Mu baana bonna tebaŋŋema
Mu byaddala obulwadde bwannuma
N’okusoma blood kwalema
Saapowa era obulamu tebwantama
Nze kye manyi Katonda gyali
Nasula ku carpet, ng’obuliri tewali
N’ebivvulu ebyali ku nkumi bbiri
Omutujju nayitanga mu kituli
Ng’obuzibu muzeeyi bumaali
N’abakazi nga bampita bbali
Kati ndi winner be bankubira entoli
Trouble, Ttabu

Oli muwanguzi omuyimbi akyeyiiya
Olaba Eddy Kenzo ava ku street
N’atuusaawo stamina!
Ne Bobi Wine muwanguzi
Yava mu Ghetto z’e Kamwokya
N’agula eryato ery’akabenje
Oli muwanguzi askari
Okuuma mu kiro empewo
N’ekufuuwa toggwaamu maanyi
Omutembeeyi oli muwanguzi
Toggwaamu ssuubi oli muwanguzi
Okay okay


Bw’oba mwavu oba kyeneena
Ne b’omanyi nga banno bakwegaana
Buli akulaba agamba tosaana
Balinda kuŋŋaana ku ntaana
Bakuwe obuyinja nga bakuwaana
Bw’oba tonazaawa bakugeya nkoona
Oli muwanguzi yongera kazana
Saasira oyo taata w’abaana
Atembeeya ebinyeebwa mu musana
Mu city City Council tagiwona
Gwe akyasoma gira ng’opambana
Time gy’omala toddamu gifuna
Abatunda ebinyeebwa kitaawo ye winner
Mwaweeredde ne baganda bo munaana
Abamu bamazeeko abalala ne bigaana
Naye era taata wo essuubi akyalirina
Kitaawo ye winner essuubi akyalirina
Kitaawo ye winner essuubi akyalirina

Oli muwanguzi eyetikka emigugu mu kibuga
Toggwaamu maanyi
Oli muwanguzi ow’amaduuka
Ku Mukwano Arcade toggwaamu ssuubi
Omusuubuzi mu kikuubo
Toggwaamu maanyi
Atunda emmere n’enyaanya
N’obutungulu ku kkubo
Owa loan ng’ekulemye okusasula
Toggwaamu maanyi
Ojja gisasula
Okay, towummula


Ewa Kisekka abakyala beetala
Banoonya ssente anti zaabula
Kasitoma emmere on’ogula?
Nedda bambi mpozzi ng’ompola
Owulira ennaku bw’emusensera
Maama atunda kasooli ku bbala
Ssente zekikazi zo ziva wala
Ewaka atuukira ku ngwala
Ssente ziriwa z’ova okukola
Nze njagala kuzannya zaala
Bambi zaakoze nga taata azitwala
Bwajjukira emmaali ye gye yajja ewala
Ng’olwo aguma omutima guyimirira
Amanyi akeera mu Owino kukola
Kumbe omuliro gwokezza emidaala
Agenda alowooza nti bamufera
Asanga vvu lye bali mu kwera
Asanga vvu na miranga

Oli muwanguzi ayoza emmotoka
Mu washing bay
Toggwaamu maanyi
Omupangisa akyapangisa
Toggwaamu ssuubi
Atunda eby’okulya mu Taxi Park topowa
Omulimi asuubula amatooke okuva e Kasese
N’agayingiza ekibuga
Toggwaamu ssuubi
Omuzannyi w’omupiira naawe bw’otyo
Malaaya eyeetunda ku kkubo topowa
Tokifaako okijja ku mutima
Okola kubeezaawo mabujje
Naawe akola mu bbaala
Toggwaamu ssuubi


Kubanga ggwe atulwanyisa
Naawe olina eriyo akulwanyisa
Hmm oyo akugoberera
Amanye naye alina amugoberera
Yeah man big up on yourself
Number one Producer Renix
Alongside oyo chali oyo Ron
A Power Records
A Power Production
Yeah man