Abange abange mbalamusizza mwenna sisosodde mu bika
Abange abange mbalamusizza mwenna sisosodde mu bika
Mubeera n’essanyu lwe muwulidde nti nina bye naleese mbawe
Nange nkyewuunya nakifuna ntya okunyumya ebibatuuka mu mitwe!
Ssi nze njagala naye nnyini nsi y’eyannaazaako ebibi
Nembeera muyonjo mu kawoowo emimiro n’assaamu eggono
Nange olwamanya bye yantonedde nenzija gye mubeera nnyumye
Ate ekirungi nemba wa lugambo awo ovunaana yanjola
Ekirala face nakula mbi essanyu lyabulako omanyi
Sso nga ndi wa kisa nnyo mu birowoozo kyenva mbuulirira okufa
Okwo kwennyongereza okkuba ekidongo nekyebalula ng’obuti
Neweebuuza nti ono yakula atya ayimba byotomuteebeza
Mmwe bebifaanana mukeera mwenge abamu mwabidobonkanya
Leka nnyimbe n’emizimu gy’eka ginnyambe obutaseerera
Ne Mukama waagyo ye Katonda ampenga ebibawoomera
Munaabanga mukunga bye naleese ng’ekya nnyongerayo ebipya
Omulimu gwe mbawadde gwa kulindanga emboozi obutaweeramu
N’olwaleero buli ali waali atuule nga teyeekwetula
Gw’ononyumiza abatampulidde nti oli akisimba n’alosa
Kale ekirinzija kuyimba wamma, ddala ndimala kuddayo magombe
Naye nga nkyassa tuli butoola
Naye baganda bange ekintu ekizibu ku nsi eky’okwewala
Ekintu mukazi nebwekiriba ki mpaawo anaakisimattuka
Bwe baba gyebali abo balala nnyo ssi nze njagala nkukkuse
Bwekiba kiwuka nga ky’ekivaako emmeeme n’etutabanguka
Owange kinene obunene bwakyo kisinga vuuvuumira
Buli lwekipalala kiti okubuuka emmeeme n’etutabanguka
Ate bakabasajja mwanawattu balinga nze be bannaamira
Omukazi Aminah ono gwe mbagamba, lumu mba nva Mpambire
Nga nsanga likazi likumba lwalyo saalwa nendyegwaniza
Bwendiyitako nti kwekukyuka ndabe enkoto bwe lyakula
Ŋŋenda odiva enkoto okutuuka wansi ng’entuuyo zimbunye ebikya
Kwekwefuula alina ky’alibuuza nti maama njagala okunjuna
Nga nsembera we lyali nga ntokota ng’era omuntu atengula
Werintegeereza obufumbo bwalyo ng’ate ebyo tebinkwatako
Tetwalwawo tukkiriziganyizza andagiridde waasisinkanwa
Ng’omulenzi ntandika kuganza mmulumba ewa bba awaka
Akawungeezi waaliwo ekimwanyi wentuula n’ansisinkana
Naye nga tetulwayo tupapa nnyo n’ebweru ebaayo ensiri
Ky’ekyavaako liganzi lyange munnange obutalikkuta
Omanyi omukwano gwagala awateese
Ng’oli ne munno nemutereera
Naye bwegubaamu banaatusanga
Emmeeme eremeramu okuwankawanka
Munnange tubeera tukyagezaako mu ngeri eyo ey’okwerumya
Muganzi wange kwekuva akagambo lumu nange akandi mu mutwe
Yatandika mpola nga yeekuteera era ng’omuntu asoomoza
Nti ndinyumyako ddi naawe mwattu wabulewo n’ekitusumbuwa?
Nze kwekumuddamu nti ewalisinga ye mu lodge awatali anyumya
Nga tulinda lunaku bba lw’alivaawo ng’agenze gy’asuubula
Z’olaga omulungi tezirwa, lumu omwami bw’ava gy’akola
N’amutegeeza mukyala we, ng’ekya bw’ataabeerewo
Nange bwempitayo mmulamuseeko mu kimwanyi wetusisinkana
Kyeyanziguzisaako kuloopa bba ng’enkya bwataabeerewo
Nange enkeera nasinduka nnyo, okunoonya wetusiisira
Bwe nfunawo nga nkima mulongo, ŋŋamba oli mukyala Aminah
Twasiiba muli nga twegadanga olunaku lwaziba bwerutyo
Netwetegekera odukeesa wamma nga tuli mu mirembe bwegityo
Twanywa omwenge guno omuzungu n’agusomba n’atwetamwa
Omanyi muka omusajja bw’omukwasa munnange togazaagaza
Awo nalina kwetona maganzi, ansiime buteddiza
Ebyembi Lawuli Kasambalyanda ŋŋamba bba mukyala Aminah
Yali aganzizza eggwala erigumba nga lyadibirawo awaka
Naye kw’olwo lwe yali alireese omwo mu lodge ajje alikkute
Sooka oninde mmale okuweera
Ndyoke nkubuulire ekigambo bwenzi
Bwe kyasisinkanya Kasambalyanda
Ne mukyala we mu lufula emu
Twabanga tuli eno twerigomba nze ne mukyala Aminah
Twabanga tuli eno twerigomba nze ne mukyala Aminah
Nga ne Lawurensio Kasambalyanda side eri alabamu eggwala
Essaawa zaali zigenze mu nnya Aminah ayagala okwebaka
N’akwata ttawulo amale okunaaba era ng’omuntu ateekeka
Nze yandekamu neegalaamirizza ng’era omuntu nannyini
Wuuyo yogaayoga abase olukuubo ayolekedde gyebanaabira
Aba aweta akasonda abambaala omukyala asagala nnyaabula
Nga ne Lawurensio Kasambalyanda, naye ava gye banaabira
Engeri omukazi gye yali asibyemu amaaso gaamudobonkana
Teyeekeka muntu ajja mukazi wattu abayita abasuze ba muli
Aba amuyitako ati abambaala omwami n’amwokya oluyi
Eh eh Aminah oluyi lwamunoga nnyo enduulu n’agibalangula
Nze bwe mpulira omwagalwa gy’agenze ate y’ewafubuttuse akabi
Nenfuumuuka ndabe ekibadde ani antaguulira Aminah!
Nagenda mbuuza nkaalanguse nnyo ki mukyala ekikusumbuwa?
Ne nja ngwa mu njuki Kasambalyanda n’amuta n’ambakira antuge
Olwo nga n’eggwala liri erigumba lye yaleese ajje alikkute
Lijja buteesagga limubuuze, bba waalyo ekimulwanyisa
Aminah bwerimweyoleka mu bwenyi n’ava gye baamuganzise
N’alyambalira nerukoleera yonna loogi n’etabanguka
Nga nze essajja lintuga lwa mbi nange nnwana okwewonya
Ne Aminah eggwala limwetibyeko ze bagamba ezizze okunywa
Naye nga bw’olowooza ekitulwanya mu butuufu kwali kwekaza
Wano omwami yandigambye munne
Nti ondabye mukyala bwe mmanyi okucanga
N’omukyala n’addamu nti nze akusinga
Twabanga ne Kasambalyanda ng’ebikonde bikyatwefuka
Nga nze mmagamaga kuzuula wantu mpitewo nga tebannannoza
Era bwe nafunawo nembulizaako enduulu n’ejja empondera
Olwo nenjulirira okusaba Katonda ambuuse mpitireko mu bire
Era nasibamu ndi mu kitoogo nkwebeedde neevumbise
Nagiranga nendowooza bwe tubadde emisana nga mbiita Aminah
Ate awo nendowooza bwe tubadde ng’essajja linfuntula
Nenfundikira nga ndi mu kitoogo omuntu eyeezimbira
Kwekulinda ku njuba okuvaayo ndyoke njolekere awaka
Nasanga n’omukyala yabitegedde kuba bannoonyaayo ekiro
Mbeera ndi ku mukyala mmuweeweeza ne nja mpulira bakuntumye
Landa Rover mwetebula nvuuma era bwentyo nengyekeka
Munnange bwemala okugenda nenja nkukunukayo ndabe
Nasanga n’omukyala yamazeemu ng’enju eduumye ng’essaka
Nga nja nkulabira eyali omufumbo, kati nnoonya mupya mpase
Ne Aminah ali waabwe akolima nnyo mwonoonera obufumbo bwe
Ne Lawurensio Kasambalyadda ali ayaniriza lwe ndifa
Kyenva ŋŋamba oba eriyo omuganga
Ng’eddagala lye livumula nnyo ng’endwadde esinga liwonya bwenzi
Ampe nnywe nnyweeko naye ndugenda
Muganze abakazi kababe kinaana bwoba osobola okwepima
Nga temuli muka musajja n’omu awo waakiri waakiri
Muka omusajja okuva ku kisooka talina mirembe miruŋŋamu
Takkutibwa buli lw’omukwasa opakuka obeera ng’anyaga
Taviikako nebwebamukugaana kuba ensimbi toyiwaayiwa
Ogula bizigo awo byokka byokka bbaawe byataalingize
Era bw’osussaawo akkubira mangu, nti owange bajja kummanya
Tabeera na bbuba nebwakusanga n’omukaaga takufuŋŋana
Ate abaako fence bw’omulinda emmeeme ekuwanukayo abubye
N’entaana yo tekuba luggi bw’oganza abalina amaka
Ebbanga lye mmaze nga mbanonooza by’ebyo byembazuddemu ebibi
Kati bannange mbase olugendo ŋŋende nkuŋŋaanye ebipya
Nninnye zi Taso oba bu kigaati?
Ye eriwa mmotoka eriwa etutwala?
Anti njagala kutuukako mu bakadde e Masaka
Ssemakula Herman Basudde
Ssemakula Herman Basudde
Ssemakula Herman Basudde
Ssemakula Herman Basudde
Ssemakula Herman Basudde
Ssemakula Herman Basudde
Ssemakula Herman Basudde
Ssemakula Herman Basudde
Ssemakula Herman Basudde
Ssemakula Herman Basudde
Ssemakula Herman Basudde
Ssemakula Herman Basudde
Ssemakula Herman Basudde
Ssemakula Herman Basudde
Ssemakula Herman Basudde
Dj Heavy 256
Enki
Tracy Melon
Jose Chameleone
Dj Heavy 256
Kabukusi Fox
Kabukusi Fox
Kabukusi Fox
ft. JayLee
Vyroota
Kabukusi Fox
DJ Ash Bwoy
pt Collection
Marios
Ray Signature
Dr Lover Bowy