0:00
3:02
Now playing: Esanyu Dagala

Esanyu Dagala Lyrics by Irene Ntale


Oooh ooh oh
Yeah yeah eeh
Eeeh
D-King

Ng’enjuba bw’evaayo ku makya
N’emulisa olunaku
Ewange ofuuse ttaala
Enjakira mu bulamu
Anti onjigirizza okwagala
Okutaliimu kukaka mbeera
Kimpoowooze, ondidde obwongo
Love yo is all I want
Kuba ebiseera byo nina
Kangwagaze kajanja
Nze ate oba simanyi bya kuloga
Baligamba omuwala yessaawo
Oba sikusaanira
Ebyo bigambo bugambo sibiwa matu gange eh

Nze ompadde essanyu ddagala
Ebyama byo ndibikuuma
Nkuwadde obweyamo
Kubanga wooli
Kankwagale essanyu ddagala
Bye nsuubiza ndituukiriza
Nkuwadde obweyamo
Kubanga wendi
Essanyu ddagala
Lino essanyu ddagala
Essanyu ddagala
Lino essanyu ddagala

Ng’omukwano bwegutalina limit
Ndi mu kikumi nnyongeza
Omukwano teguboola langi
K’abe ani gumugonza
Ebiseera byomumaaso ebyaffe
Twezimbe tubirongoose
Nze naakufumbiranga ebiyidde
Kw’olirya ppaka ng’ozeeyuse
Baligamba jajja ayagadde munne
Ensi ebawoomedde
Mu buli mbeera kankuume
Endagaano yange eeh

Nze ompadde essanyu ddagala
Ebyama byo ndibikuuma
Nkuwadde obweyamo
Kubanga wooli
Kankwagale essanyu ddagala
Bye nsuubiza ndituukiriza
Nkuwadde obweyamo
Kubanga wendi
Essanyu ddagala
Lino essanyu ddagala
Essanyu ddagala
Lino essanyu ddagala

Nze ompadde essanyu ddagala
Ebyama byo ndibikuuma
Nkuwadde obweyamo
Kubanga wooli
Kankwagale essanyu ddagala
Bye nsuubiza ndituukiriza
Nkuwadde obweyamo
Kubanga wendi
Essanyu ddagala
Lino essanyu ddagala
Essanyu ddagala aaah

Ddagala aah
Essanyu ddagala
Lino essanyu ddagala aaah