0:00
3:02
Now playing: Gwokya Nga Omuliro

Gwokya Nga Omuliro Lyrics by Lydia Jazmine


Yeah
Ooh ooh yeah
Oh yeah yeah yeah yeah

Omukwano gwo gwokya ng’omuliro
Gwokya ng’omuliro
Olimu sukaali ng’ebikajjo by’e Kawolo
Gwokya ng’omuliro
Omukwano gwo gwokya nga omuliro oh
Gwokya ng’omuliro
Olimu sukaali ng’ebikajjo by’e Kawolo
Gwokya ng’omuliro

Sweet olimu sukaali ojje naawe
Weekombeko lumu omanye
Olina akamwenyu bwoba osese
Oyakaayaka ng’emmunyenye
Buli lwendaba akutunuulira
Mba muyi sitereera
Obuwoomi bwo bw’oyina
Bummaze amaanyi gonna
Ebigezo bingi yeah
Tekinkola bulungi, no (no)
Oyambala smart n’onyuma
N’otwala amaaso gonna
Onsika seppulingi yeah

Omukwano gwo gwokya ng’omuliro
Gwokya ng’omuliro
Olimu sukaali ng’ebikajjo by’e Kawolo
Gwokya ng’omuliro; oh, oh
Omukwano gwo gwokya nga omuliro oh
Gwokya ng’omuliro
Olimu sukaali ng’ebikajjo by’e Kawolo
Gwokya ng’omuliro

Olina obwogi bwa kyambe
Nze ndi mazzi oli nkonge
Bw’onookyafuwala n’oddugala
Naakukuuta n’ekyangwe
Nze ndi mumpi gwe oli muwanvu
Kino ekiwato kya nje (oooh)
Nja kufumbira duuma
Nja biwoomesa (nja biwoomesa)
Ojja kundeetera gonja
Nja kusiikira (nja kusiikira)
Nja kukuumira ekyama
Nze nja kulwanira
N’akawunga ne doodo dear nja biwoomesa
Na yenna gw’oyinayo
Mugambe akite nayingirawo

Omukwano gwo gwokya ng’omuliro
Gwokya ng’omuliro
Olimu sukaali ng’ebikajjo by’e Kawolo
Gwokya ng’omuliro; oh, oh
Omukwano gwo gwokya nga omuliro oh
Gwokya ng’omuliro
Olimu sukaali ng’ebikajjo by’e Kawolo
Gwokya ng’omuliro

Bw’oliba ng’okaaba
Naakuwa sweet w’akati onuune
Nkufumbire, nkuzaalire abaana batufaanane
Yoya osabe (yoya osabe)
Byonna ofune (byonna ofune)
Omukwano gumpe ngukuumire eno
Nguteekeko ejjinja
Ngukuume nga zaabu ngutereke
Okomewo nkubikkulire
Nfune otulo, mpone ekiro
Gw’olimu sukaali hamuka masaali
Owoomesa ka chai nga tekuli majaani

Omukwano gwo gwokya ng’omuliro
Gwokya ng’omuliro
Olimu sukaali ng’ebikajjo by’e Kawolo
Gwokya ng’omuliro; oh, oh
Omukwano gwo gwokya nga omuliro oh
Gwokya ng’omuliro
Olimu sukaali ng’ebikajjo by’e Kawolo
Gwokya ng’omuliro

Olimu sukaali
Gwokya ng’omuliro
Oh yeah eh
Gwokya ng’omuliro
Gwokya ng’omulirooo oh
Gwokya ng’omuliro