0:00
3:02
Now playing: Awo

Awo Lyrics by Ntaate


We naswalira
We nanyoomebwa
We nabuuzibwa nti aliva wa?
Alinzigya mw’eno enfuufu
Awo ooh we yamteera omukisa

Bwe lwakeera aah
Nga lwange era
Mukama teyateeka mukisa eri
Yaguteeka awo we baanvumira
Mazima olwakeera, n’alulagira
Nti lwange era

Ebintu byakyuuka
Emimwa gy’abangi yagisirisa
Ng’anviiriddeyo Katonda bwe bambuuza
N’olwaleero njagala ndabe alina ky’agamba

Awo ooh we yanteera omukisa
Wakati w’ennyanja awo
Masekkati g’embuyaga
Ooh yee weewo
We yanteera omukisa
Wakati w’abangi be neenyinyaza
Masekkati g’ebigambo
Ooh yee weewo
We yanteera omukisa

Kati njagala olabe leero
Nti omukisa guva gyali
Teri muntu alina kigambo
Kisobola kumenya mukisa guli
Bwe lukeera n’asiima

Nti lulwo era
Ebintu bikyuuka
Ekintu kituuka ah
Ng’ayingiddewo Katonda omutegeera ah
Ensi n’ensi zikyuusa emitwe ku lulwo omu

Awo ooh we yanteera omukisa
Wakati w’ennyanja awo (Awo)
Masekkati g’embuyaga
Ooh yee weewo (Weewo)
We yanteera omukisa
Wakati w’abangi be neenyinyaza
Nti nze we ninnya weesittaza
Ooh yee weewo
We yanteera omukisa

Ng’anviiriddeyo Katonda we bambuuza
We naswalira awo
N’olwaleero njagala ndabe alina ky’agamba aah
Awo ooh we yanteera omukisa
Wakati w’ennyanja awo (Awo)

Masekkati g’embuyaga
Ooh yee weewo (Weewo)
We yanteera omukisa
Wakati w’abangi be neenyinyaza
Nti nze we ninnya weesittaza
Ooh yee weewo (Awo)
We yanteera omukisa

Oooh awo
We banjoogera
Awo, awo oh
We yanteera omukisa
Awo, awo, awo
Ntante