0:00
3:02
Now playing: Mpeereza Emunyenye

Mpeereza Emunyenye Lyrics by Pallaso


Jah Live
Hmmm!
Pallaso, Pastor
Hmmm
Waguan
Hmmmmm
Hmmmmm
Bass Boss

Both
Mpeereza emmunyenye
Enkulembera ku makya
Mpeereza emmunyenye (ooh)
Enkulembera mu kiro (Katonda wange)
Mpeereza emmunyenye (mpeereza emmunyenye)
Enkulembera ku makya (ooh)
Mpeereza emmunyenye (mpeereza emmunyenye)
Enkulembera mu kiro (cce)

Bugembe
Mukama Katonda eyantonda
Nsaasira nkusumbuwemu katini
Simanyi oba ebiri ku ttivvi naawe obiraba
Ebiri mu nsi yattu gye watonda
Laba abalala batta bannaabwe!
Baloga bannaabwe
Bawaayiriza ne bannaabwe
Hmmm ono yabba munne
Kyokka ate mu kkooti baamusingisa munne!
Hmmm nze nkusaba onkuume
Obwana bwange, maama wange
Ne Pallaso
Hmmm nze nkusaba onkuume
Mpeereza emmunyenye enkuume
Emisana n’ekiro

Both
Mpeereza emmunyenye
Enkulembera ku makya
Mpeereza emmunyenye (ooh)
Enkulembera mu kiro (Katonda wange)
Mpeereza emmunyenye (mpeereza emmunyenye)
Enkulembera ku makya (ooh)
Mpeereza emmunyenye (mpeereza emmunyenye)
Enkulembera mu kiro

Pallaso
Nsaba bye wagereka bituuke
Ensi ogiteekemu emirembe
Ab’emitima egyaguba gikyuke
Oh bandabenga n’ekisa
Mukama wadde bye njagala bingi
Nonderaamu ekyo kyomanyi ekirungi
Ne ku mirimu eyo byempitamu bingi
Mpanguza wawanguza Dawudi
Nkwesiga nze gwe ngabo yange
Nabalabye abo abalwana nange
Gwe mmunyenye eyo ndaba omukisa gwange
Mukama teri akusinga maanyi
Weereza

Both
Mpeereza emmunyenye (hmm nsinza linnya lyo)
Enkulembera ku makya (hmm erinnya lyo Mukama)
Mpeereza emmunyenye (ooh)
Enkulembera mu kiro (Katonda wange)
Mpeereza emmunyenye (mpeereza emmunyenye)
Enkulembera ku makya (ooh)
Mpeereza emmunyenye (mpeereza emmunyenye)
Enkulembera mu kiro

Dear God
I need you more than ever
Please bring peace to my confusion
Joy to my sadness
And hope to my heart
In Jesus’ name I pray
Amen!