0:00
3:02
Now playing: KIKENKE

KIKENKE Lyrics by Pallaso


Likkle bwoy tried breakin’ inna mi yard
Well dis a Pallaso, true story
Baur
I love you babe

Nalina mukyala wange, ng’eka y’afumba
Nga namusuubiza empeta
Ndimala nengimuwa
Ng’ayoya eryenvu nendimuwa
Nga lw’ampise darli ngwa ku njuba
Nga ngwa n’akasawo
Nga bwaba alina ng’aba ku sure
Kikenke n’amukwana, n’amusuubiza bingi
Kikenke nebamugaana, n’awejjera bingi
N’amujeregajerega, ng’ate nze mmwagala
Kikenke olwamumma, n’anooma bunoomi
Wayolesa omululu
Kikenke omukwabuzi
Gwe Mr. Kikenke
Nze wabula nakubuuka
Mbuuza watuuka otya?
Okwepima mu bakulu?
Amaddu go galikoma wa?
Gwe manya nti

Toli wa kitalo nnyo
Ono gw’ozalawa nze gwenjagala
Sitaani mwenenye
Kuba kino ekibuga waakakiraba
Toli wa kitalo nnyo
Ono gw’ozalawa nze gwenjagala
Sitaani mwenenye
Leka kwanika nga tonnayoza

Tubalabyeko, tubalabyeko
Siggwe asoose tocacayika
Oyogera nnyo olumu manya w’okoma
Yanguwa ennyonyi egenda kukuleka
Liziki yo y’ekweyimiririra
Kolagana na bantu emikisa kwe giva
Speed kw’ojjira kwetukutwalira
Eno city ssi bizimbe kati zaabike (koleeza)

Ono gw’ozalawa nze gwenjagala
Sitaani mwenenye (koleeza)
Kuba kino ekibuga waakakiraba
Toli wa kitalo nnyo
Ono gw’ozalawa nze gwenjagala
Sitaani mwenenye
Leka kwanika nga tonnayoza

Wanneegaana nze naliwo ng’onneetaaga (eeh)
Gwe byonna kola naye vva ku maka gange (eeh)
Wavuma newewaana naye Mukama alaba (eeh)
Gwe beera ng’akakolwa mu musiri gwekataasiga (eeh)
Wayolesa omululu (eh)
Kikenke omwerabize (eh)
Gwe Mr. Kikenke (eh)
Nze wabula nakubuuka (eh)

Toli wa kitalo nnyo
Ono gw’ozalawa nze gwenjagala
Sitaani mwenenye
Kuba kino ekibuga waakakiraba
Toli wa kitalo nnyo
Ono gw’ozalawa nze gwenjagala
Sitaani mwenenye
Leka kwanika nga tonnayoza

Toyinza kupimaapima
Ate ettabi kw’otudde n’otema
Toyinza kupimaapima
Ate ettabi kw’otudde n’otema yeah eh
Aboogezi tubalabyeko
Abakwanyi tubalabyeko
Abalimba tubalabyeko
N’abagenyi tubalabyeko