0:00
3:02
Now playing: Nkooye Okwegomba

Nkooye Okwegomba Lyrics by Philly Bongole Lutaaya


Ennaku entuddeko ku mutima
Simanyi oba ngiteese wa!
Buli kye nkola kiremera awo ne nsoberwa
Abange nsale galuwa?
Ŋezezzaako nnyo okukola kye nsobola
Nfune ku bulamu obweyagaza
Nsobole okusanyusa abange be nkuuma
Nabo nno maama beeyagaleko
Oh ndabye ennaku etekoma etudde ku nze
Oh maama ki kye nakola?
Bwe ndaba ali mu ssanyu ne neekyawa
Nga nze ndaba nzigwerera
Enkuba enkubye omusana gwase ku nze
Empewo nayo entintimya
Ka nfube nkole nga nange bwe nsobola
Ennaku ngifuule lugero
Zikusooka
Nezitakuva mabega

Nagendako eyo ewa baaba
Ne mmuliiramu ebizibu byange
Kyambuukako baaba bwe yaŋamba
Nti twala twala eri ebigambo byo
Ab’emikwano bankyawa
Omwavu tayagalika
Ne nsigaza Lugaba Mungu eyantonda
Ye yekka y’atalingyabulira
Oh ndabye ennaku etekoma etudde ku nze
Oh maama ki kye nakola?
Bwe ndaba ali mu ssanyu ne nekyawa
Nga nze ndaba nzigwerera
Enkuba enkubye omusana gwase ku nze
Empewo nayo entintimya
Ka nfube nkole nga nange bwe nsobola
Ennaku ngifuule lugero

Eby’ensi eno bintabudde maama
Mbirekedde omutonzi alina obuyinza
Bannange lwaki bo beeyagala
Nze ne mbulwa ke nfunayo akalungi
Sinoonya bya bugagga ku nsi
Wabula mirembe gyokka
Nzijanjabe abomumaka gange
Omukyala n’abaana bange

Nkooye nkooye nkooye
Nkooye okwegomba
Nkooye nkooye nkooye
Nkooye okwesiimisa abalala
Emirimu ngigezezzaako nkumu
Buli kye nkola sitereera
Amawanga ngatambuddemu nnyo nkumu
Sirina wesituuse
Naye nze nno omwana wabandi ndabye
Kuba kino kinsukkiridde
Kanfukamire ku maviivi nsabe omutonzi
Ye yekka ananuŋamyanga

Nkooye nkooye nkooye
Nkooye okwegomba
Nkooye nkooye nkooye
Nkooye okwesiimisa abalala
Nkooye nkooye nkooye
Nkooye okwegomba
Nkooye nkooye nkooye
Nkooye okwesiimisa abalala
Naye nze nno omwana wabandi ndabye
Kuba kino kinsukkiridde
Kanfukamire ku maviivi nsabe omutonzi
Ye yekka ananuŋamyanga
Kanfukamire ku maviivi nsabe omutonzi
Ye yekka ananuŋamyanga