0:00
3:02
Now playing: Gwembikwasiza

Gwembikwasiza Lyrics by Princess Amiirah


Eno Beats

Oh Jah, Oh Jah, Oh Jah
Nange oh Jah era nkukwasizza obulamu bwange
Nga buli lunaku nfukamira nze ne musaba
Amponye ennaku yamponyanga ne bye siraba
Yalwanyisa abalabe, yalwanyisa emizimu
Yalwanyisa n’emyoyo emibi
Katonda w’omwavu, ye Katonda w’omugagga
Ye Katonda wa buli kimu
Mulimu lwe ngisula oluusi ne ngisiiba
N’amazzi g’akawunga oluusi ne nganaaba
Naye ate ne sikoowa ne nkanya kuyiiya
Oluusi n’anzijukira n’ampaayo

Mungu gwe mbikwasizza
Eno embeera gwe ngikwasizza nze
Kuba era y’agikyusizza
Kye nina okukola kya kumusaba nze
Mungu gwe mbikwasizza
Eno embeera gwe ngikwasizza nze
Kuba era y’agikyusizza
Kye nina okukola kya kumusaba nze

Ensi kati yafuuka ya ba Cain na ba Abel
Buli gw’olaba akulwanyisa
Nga Cain bwe yalwanyisanga Abel
Yakwata lumbugu n’alusuula mu nnimiro yange
Mbu tayagala nfune mmere ayagala ndye malusu gange
Naye byonna byonna nabikwasa nze Mungu (oyo)
Kubanga sisiba busungu (oyo)
Oyo eyatutonda y’ali mu kiyungu (oyo)
Y’amanya kye tunaalya enkya eh

Mungu gwe mbikwasizza
Eno embeera gwe ngikwasizza nze
Kuba era y’agikyusizza
Kye nina okukola kya kumusaba nze
Mungu gwe mbikwasizza
Eno embeera gwe ngikwasizza nze
Kuba era y’agikyusizza
Kye nina okukola kya kumusaba nze

Nga buli lunaku nfukamira nze ne musaba
Amponye ennaku yamponyanga ne bye siraba
Yalwanyisa abalabe, yalwanyisa emizimu
Yalwanyisa n’emyoyo emibi
Katonda w’omwavu, ye Katonda w’omugagga
Ye Katonda wa buli kimu
Mulimu lwe ngisula oluusi ne ngisiiba
N’amazzi g’akawunga oluusi ne nganaaba
Naye ate ne sikoowa ne nkanya kuyiiya
Oluusi n’anzijukira n’ampaayo

Mungu gwe mbikwasizza
Eno embeera gwe ngikwasizza nze
Kuba era y’agikyusizza
Kye nina okukola kya kumusaba nze
Mungu gwe mbikwasizza
Eno embeera gwe ngikwasizza nze
Kuba era y’agikyusizza
Kye nina okukola kya kumusaba nze

A Black Skin