0:00
3:02
Now playing: Who is She

Who is She Lyrics by Recho Rey


Kakyala katono okanyoomera mitala wa mugga
Naye bwe kakusemberera kasobola okumegga
Nzize kugoba bubble gum ku lwaliiriro
Hee, mugudde mu kamwa ka goonya
Recho Rey
Invaders Music

Ba rapper ntandise obamamirira
Omutontomi y’atontoma ekitontome
Laba nno bano!
Lugaflow mu kutandika nga wa kabi nnyo
Naye ba ffala bajjamu kumukuula binnyo
Nzize nga ssenga e Ssingo
Nzize basomesa
Munsinga myaka
Mbasinga work
This is not disrespect
Am the illest
Baddest
Leader ku beat
Katondest
Haha, Invado

Gwe lu Fake Butt by’okola butwa mbu you did it
Oli ka magumba nnyamazaalwo no meat
Tosobola kugejja okuggyako
Ng’otandise okulya big pig you big
Mwe abaabitandise nange I’ve did it
Ozannyidde mu business nonsense
Eno process
Ŋŋenda bakuba mu excess
Ate mwe abatyanga ebixam muli workless
Afudde
Bubadde bulwadde bwa njoka
Omulwadde addako

Next ye kaddugala
Ne bw’omukuuta tasobola kutukula
Wayeruukirira erudda n’omyukirira ng’eryanda
Olwamala ba presenter
Otandise okukwebera
In fact bakuteeke mu zoo tutandike okulambula
N’embuzi ezikutudde, otandike ozikwabula
N’ebisagazi byazo otandike obiswankula
Anti osomesa, genda osomese enkula
Ebya Zuena biveeko okuggyako ng’okyusa entunula
N’ono afudde
Buno butujju bwennyini
Enzikiza eyase n’ettaala n’ezikira
Eno calamity

Kati ono my property
My yoghurt
My chapatti
Oli bogus
Mstchew, hip hop tolinaamu property
In fact, lyrics zo tezirina format
Mafia tayambala bupale bwa ba deemu
Ffe ba deemu tuyombye buggyeemu!
N’emmotoka emyufu z’abakyala baamu
Copy and paste abaana baakugwaamu
Tulinze evidence ekintu okiveemu
Eno podium yetaaga game
N’aba flow emu ekintu baakivuddemu
Baakubye ekidandali okukkakkana nga baweddemu

Tubadde tukyali awo
Obudde bwammwe ne bunzigwaako
Kaŋŋende neekolere ebinanzimba
Enkya bizimbe n’eggwanga, Brrrrrr
Haa! Akatalekeka
Haa! Akatalekeka
Kati you gotta like me now
Recho Rey
Eno mbakubye ndoddo, nkabakubye
Mbu Who is Who?
Muntegedde Who is a She? Bad girl fly
You gotta like me now
Recho Rey
Eno mbakubye ndoddo, nkabakubye
Mbu Who is Who?
Muntegedde Who is a She? Bad girl fly
Brrrrrr