0:00
3:02
Now playing: Imagine Uganda

Imagine Uganda Lyrics by Recho Rey


Intro
Yeah, Recho Rey
Yeah, JR
Imagine Uganda
When this is Uganda [Haha] [Seth Andrew Music]

Verse I
Nga kuno tekuli bya monopoly, buli kamu tugabana nga family [Yeah]
Nga tewali bukenuzi [Bukenuzi]
Alya enguzi aba kapere [Kapere]
Nga ba kifesi bawejere be twegomba nga tewali bufere [Yeah!]
Labayo what if [What if]
Nga ffena emitima gitukula
Eyandibadde akuloga nga yali mukanisa akusabila
Twandibadde mu love [Mu love]
Eyaddala from above [Above]
Naye abantu bakyamu, olaba batukuba kalifomu

Verse II
Ddamu siiga ekifannanyi, ekya Uganda omutali bukyaayi
Nga tugabana kachayi
Tekyali na bya kuyiwa musaayi
Imagine Uganda
Omutali kasasilo [Kasasilo]
Nga buli lunaku tukola bulungi bwansi, nga tewali wawunya [Tewali]
Nga cholera tetumutya [Tetumutya]
Ne corona tetumutya [Tetumutya]
Ggonya nga zetutya, anti bwezitalya zitulya
Ye ffe Banayuganda [Banayuganda]
Tuli Banayuganda [Banayuganda]
Ebinyigiliza abalala tubivemu tebituzimba [Tuzimba]

Bridge
Tuve mu katemba [Katemba]
Buli kimu tukisobola [Yeah]
Just tekamu biddi [Biddi]
Ffuba nga Moses Golola

Verse III
Imagine Kampala [Kampala]
Omutali street kid [Kid]
Nga bafuna support [Support]
Nabo basuleko nga ba boss [Ba boss]
Nga enjala tebasula [Yeah]
Bwe bayoya ebiffi nga bafuna [Bafuna]
Mu masomero basoma
Life yandibanyumidde obutakoma
Imagine what if [What if]
Uganda yatuli kumitima [Yeah]
Nga tuwagila Villa, KCC, Vipers okusinga zi Arsenal [Yeah]
Onyango ye De Gea [De Gea]
Mia ye Messi [Messi]
Ochaya ye Marcelo, osanga twanditutte World Cup

Verse IV
Wama imagine [Imagine]
Ssinga abayimbi bali tebaffa [Tebaffa]
Ssinga mu nsi ffe tufuga
Ssinga ffe tutegeka ne zi Grammy
Kafeero yandibadde ne hit [Ne hit]
Ne Philly ne hit [Ne hit]
Radio ne hit [Ne hit]
Basudde zonna hit [Ah!]
Naye tukyali mu ntalo, UPRS etukubisa bibalo
Etuyita kulitalaba batusosola, David Lutalo
Kubamu akafananyi [Yeah]
Ssinga Makerere ye Harvard [Harvard]
Nga teli anyigilizibwa, nga teliyo na kwekalakasa [Teli]
Twandibadde mu harmony
Degree first class nga zetufuna
Naye entalo ezitakoma [ezitakoma], ze retake zetufuna [Zetufuna]
Twandibadde babangufu, nga tetwaga bachuba
Twandibadde basanyufu, olwegulo nga tunywamu ku buchupa [Yeah]
Uganda my motherland [Motherland]
Nga Katonda ye taata [Taata]
Tukomye enkokola
Twezimbe nga tetutoma [Yeah]

Outro Bridge
Imagine Uganda
Preach peace [Yeah, yeah]
Imagine Uganda
Preach peace [Yeah, yeah]
Imagine Uganda
Preach peace [Yeah, yeah]
Imagine Uganda
Preach peace
Yeah, yeah, yeah

Outro Hook
Munayuganda [Ndi munayuganda]
Situla Uganda [Ehh munayuganda]
Munayuganda [Ndi munayuganda]
Yagaliza Uganda [Ehh munayuganda]
Munayuganda
Situla Uganda [Ehh munayuganda]
Munayuganda
Yagaliza Uganda [Munayuganda]