0:00
3:02
Now playing: Batitizi

Batitizi Lyrics by Ronald Mayinja


Ebiyinja abalabe bo bye bakanyuga
Byewome naye tobibaddizanga
Obikuŋŋaanyanga byonna n’obizimbisa enju
Bwebabanga bateze emisanvu, mu kkubo
Bakulemese gy’olaga
Kirabe nga lutindo
Kwe tuyita ne tusomoka emigga
Abaddu ba sitaani batiitiizi
Batya kitangaala na nduulu
Bye bakkola bisse mu ttaala
Oyanike enkwe zaabwe

Abo batiitiizi
Naawe baagala otye
Kuba baalaga abantu
Nti ebintu bizibu nnyo
Kati bwe balaba abikoze
Bamwogerera nnyo
Bamulemese aveewo
Aleme obalaga obunafu
Abakuwalana batiitiizi
Naawe baagala otye
Kuba baalaga abantu
Nti ebintu bizibu nnyo
Kati bwe balaba abikoze
Bamwogerera nnyo
Bamulemese aveewo
Aleme obalaga obunafu

Olumu ebitunyiga okujja
Bijja n’olaba ng’ebibi
Naye ekibireeta okujja
Biba bigezesa busobozi bwo
Kati bw’omala obiwangula
Ogenda ku ddaala eddala
Wabula kasita bikuwangula
Ne w’oli ovaawo n’okka wansi
Abawangula ensi
Ssi bagagga oba ab’amaanyi
Naye abawanguzi
Beebo abalemera ku nsonga

Abo batiitiizi
Naawe baagala otye
Kuba baalaga abantu
Nti ebintu bizibu nnyo
Kati bwe balaba abikoze
Bamwogerera nnyo
Bamulemese aveewo
Aleme obalaga obunafu


Abantu abasinza Katonda
Mu nsi tabaggyirawo bizibu
Naye bwe bibasanga
Abayamba ne bawangula
Kazibe ensozi
Abawa amaanyi agazirinnya
N’abakuli obubi
Ogenda kubawangula
Tebakulimba nti
Abatakwagaliza be basalawo
Wabula Katonda omu
Y’amanyi ky’oliba

Abo batiitiizi
Naawe baagala otye
Kuba baalaga abantu
Nti ebintu bizibu nnyo
Kati bwe balaba abikoze
Bamwogerera nnyo
Bamulemese aveewo
Aleme obalaga obunafu

Waggulu kasolya k’omumanyi
Wabaayo ebire
Ne w’abaagala okulemya ensi
Eriyo Katonda akulwanira
Goliath yalinga mukambwe
Naye Dawudi yamuwangula
Naawe leka nkukwase Katonda
Abeere envumuulo yo
Oyo alina amaanyi
Ssi mwana w’abantu
Gwe nkukwasizza
Era weeraba
Kavuma abakuwalana batiitiizi Eeeh
Ali Mawale abakuwalana batiitiizi Wuu!
Joseph abakuwalana batiitiizi Eh
Semakula abakuwalana batiitiizi