0:00
3:02
Now playing: Mukaziwo

Mukaziwo Lyrics by Ronald Mayinja


Ekirabo taata ky’awa abaana be
Kuba kwagala maama waabwe
Essanyu ly’omuto erya namaddala
Ng’osaba olimanye yagala maama we
Bagamba anaakuggya emize
Avuma maama wo ng’owulira
Buli lw’oyisa obubi mukyala wo
Ssebo n’abaana bo bakukyawa

Mukazi wo ky’ekipimo
Abalala kwebapimira amaka go
Buli lw’abeera ng’anyirira
Ekitiibwa bakiwa gwe mwami we
Kibi okwagala abaana
Nga nnyaabwe omuyisa nga mutujju
Oyagala otya emigaati?
Ate n’owalana eŋŋano!

Obagulira keeki nebasanyuka
Gw’otulugunya yabagula musaayi
Olw’obuto keeki bazikkiriza
Naye balituuka nebalaba amazima
Obonyaabonya maama w’abaana
Olunda ngo ezirikwagula mu bukadde
Abo b’olaba ng’abato
Bakula nebawoolera eggwanga
Otulugunye nnyaabwe bakwagale
Okwo kubeera kwerimba
Okuwangula emitima gyabwe
Oyina kusanyusa maama waabwe

Mukazi wo ky’ekipimo
Abalala kwebapimira amaka go
Buli lw’abeera ng’anyirira
Ekitiibwa bakiwa gwe mwami we
Kibi okwagala abaana
Nga nnyaabwe omuyisa nga mutujju
Oyagala otya emigaati?
Ate n’owalana eŋŋano!

Awo
Hmmm
Awo

Ki otuntuza maama w’abaana?
Okuggyako okwerabira
Ng’ensi bwe yali emuyaayanira
Wajja n’omusuubiza eggulu
Akugondera kuba akwagala
Ssi kuba nti gy’agenda waabula
Oyagala anobe owase omulala
Sso nga ye ky’atya kwekubuna amalya
Mwami gundi, ddamu omutima
Singa gw’ozaala gwe bagoba
Kuba ne gw’otulugunya ogenda
Naye mwana w’abantu

Mukazi wo ky’ekipimo
Abalala kwebapimira amaka go
Buli lw’abeera ng’anyirira
Ekitiibwa bakiwa gwe mwami we
Kibi okwagala abaana
Nga nnyaabwe omuyisa nga mutujju
Oyagala otya emigaati?
Ate n’owalana eŋŋano!

Muwe alye, muwe anywe
Ayina bye yagumira
Buli lw’abeera ng’anyirira
Ekitiibwa bakiwa gwe mwami we
Ayambale anyume ensi emutye
Waliwo we yakuyisa
Buli lw’abeera ng’anyirira
Ekitiibwa bakiwa gwe mwami we
Omutwalangako ne mu dance
Akyanyumirwa ebintu ebyo
Buli lw’abeera ng’anyirira
Ekitiibwa bakiwa gwe mwami we
Tomulekanga kwekubagiza
Oba omujjukiza be yagaana
Buli lw’abeera ng’anyirira
Ekitiibwa bakiwa gwe mwami we
Omuwaanangako ne gye muyita
Akyali wa maanyi
Buli lw’abeera ng’anyirira
Ekitiibwa bakiwa gwe mwami we
Omugulirangayo akalabo bambi
Muli aba n’amaanyi
Buli lw’abeera ng’anyirira
Ekitiibwa bakiwa gwe mwami we

Ayambale anyume ensi emutye
Waliwo we yakuyisa
Buli lw’abeera ng’anyirira
Ekitiibwa bakiwa gwe mwami we
Omutwalangako ne mu dance
Naye akyanyumirwa ebintu ebyo
Buli lw’abeera ng’anyirira
Ekitiibwa bakiwa gwe mwami we