0:00
3:02
Now playing: Kikondoolo

Kikondoolo Lyrics by Sama Sojah ft. Iryn Namubiru


Zagaza
Yo!
Queen Iryn (yeah)
Sama Sojah
Ah di Lyrical Senator

Ndikusasula ki naye?
Onjagadde n’ompola bbanja
By’ompadde bingi naye
Eno love ndidde bbanja, ah
Kiriba kiki naye ng’omutwe guno gukyatoola?
Ekyo ekirimbagula amaaso nkute
Omusango gulinsinga, eeh
Ekyagaza omubi ddala omulungi tamanya
Mulungi tamanya
Nandyagadde eh nkubenga kumpi awo
Naye ssebo nkutya

Nsiba ku kikondoolo
Nteeka ku kikondoolo ooh
Nsiba ku kikondoolo
Kyonna kyonna ky’ompa nditwala ekyo
Nsiba ku mugongo ogwo ah
Omugongo ogwo oh
Nteeka ku mugongo ogwo
Kyonna kyonna ky’ompa nditwala ekyo

Yo, ompoze mukwano
Oli wa kusasulwa mukwano
Onjagaza kyejo
Nange kankwagaze kyejo
Nze ntera okunyamu eggiraasi
Naye gwe bwotanywa legako akendo
Ntera okunyiiga nga nyweddemu
Naye gwe ku gwe mba ŋŋonda
Nze n’enkata nazinga bugongolo
Nga sinnaba kukwetikka, girl
Nga sinnaba na kumanya
Oba ekituufu twetuuka

Nsiba ku kikondoolo
Nteeka ku kikondoolo ooh
Nsiba ku kikondoolo
Kyonna kyonna ky’ompa nditwala ekyo
Nsiba ku mugongo ogwo ah
Omugongo ogwo oh
Nteeka ku mugongo ogwo
Kyonna kyonna ky’ompa nditwala ekyo

Ndigenda n’ekyo
Ky’oliba ompadde nange kye ndisiima
Ndinywerera awo
Ku mugongo gwo obutakoowa
Cha, balikubuuza
Nti wamujja wa guy amanyi okuyimba, eh?
Obaddamu nti
Nayiga buyizi kusanyusa gwe, eeh!
Ekyagaza omubi ddala omulungi tamanya
Omulungi tamanya
Nandyagadde nkubenga kumpi awo
Naye ssebo nkutya

Nsiba ku kikondoolo
Nteeka ku kikondoolo ooh (ekikondoolo)
Nsiba ku kikondoolo (nteeka ku kikondoolo)
Kyonna kyonna ky’ompa nditwala ekyo
Nsiba ku mugongo ogwo ah
Omugongo ogwo oh
Nteeka ku mugongo ogwo
Kyonna kyonna ky’ompa nditwala ekyo
Mpeeka, ku mugongo ogwo (aradade)
Omugongo ogwo ooh (ha ha ha)
Hmmm (Queen Iryn, yo)
Zigidi bigidi digidi yo
Red Zone cover men come mash up the show
Red Vibes you know
Andy Music
Yeah