0:00
3:02
Now playing: Wansala

Wansala Lyrics by Victor Ruz


Nakkakkana nafuna we ntuula
Nsobole okwetegereza nga ŋŋamba
Nti osanga kye ndaba kiringa ekifu
Nannyogoga nga na buli kafunda mwe mpita
Bakukulisa kunneewala
Katugambe kyenali ndaba eno mu nsi yange
Ebigambo bingi byayita
Nga tewali kisaasira nze
Omutima ogwange ogwalumwa, oh no
Kati njoya kwekweka
Amanya kukyusa nfuneyo amapya
Ŋŋende ku kazinga ewatali anjeeya
Osanga oba embeera eriteeka
Byetwalina bigenze n'ekyeya
Buli kigenda mu maaso ssikyebeera
Ssirinaawo kya kwekwasa nzikirizza
Wansala, wansala
Wansala, wansala
Ebintu byewalinga weeyama
Wabireka awo nototya
N'ogenda n'ofunayo omupya
Kansuubire nti wakkuta
Olinywerera kw'oyo nnyabula
Nze kanzikirize nti wansala
Wansala, wansala
Bwe nakukwasa obwesigwa
Mu bye nasuubira temwali kwejjusa
Kati ndi mu maziga gwe eyo weesesa
Let me hope gw'olina toomuzannyise
Kino ne mu byafaayo kirisomebwaako
Ntinno waabaayo omuntu, eyasuula eyali amufaako
N'essuubi ne ligwawo ooh oh
Nkucongratulatinga, bravo
Ne gwe walonda akufittinga byebyo
Leka nsuubire! Taliwunzikira mu nsi eno eyange
Agambe wansala
Wansala, wansala
Ebintu byewalinga weeyama
Wabireka awo nototya
N'ogenda n'ofunayo omupya (wansala)
Kansuubire nti wakkuta
Olinywerera kw'oyo nnyabula
Nze kanzikirize nti wansala
Wansala, wansala