0:00
3:02
Now playing: Detergent

Detergent Lyrics by Winnie Nwagi


Ahaaaa
Ahaaaa
Eheeee
Ahaaaa
Eheeee

Nze nali nga ngoye
Zino ezambalwa oh kale
Ne wayitawo akaseera nga zigubye
Ne bazeyambula
(Ne bazeyambula)
Era nze
Nali nga makubo
Gano agayitwamu obuyitwa
Ne kalitanda ne lizika
Tebaayo alinnyayo yadde ekigere
Bino ebya laavu
Nnali nabidduka ng’era nze byantama
Be nnawa omutima mu biseera biri
Kale baagulumya
Bino bye nzunga oh kale
Gye nasanga omwana eyakula
Yanzizaayo ku laavu eri
Ono muto nze nazuula kale

Ono detergent
(Agogola gano amabala agalumya emitima)
Muyita detergent
(Yammalako ennaku n’andaga amasanyu)
Ono detergent
(Agogola gano amabala agalumya emitima)
Muyita detergent
(Yammalako ennaku n’andaga amasanyu)

Bwe bukya ku makya
Nga nze mmotoka
Nga ye garage
Ewuwe na paakinga
Laavu y’ono bw’eba bibala ku miti
Ffe abali mu busolya
Ono mukwano bw’aba awulula
Nze kideeya eki receivinga
Omukwano muka
Omusuffu okufa
Nga guli magical
Ogwali ogwaguba
(Amazima)
Nga bangi baalemwa
Bwe yagunnyikiza mu mazzi
Kale laba bwe gw’adda engulu
That’s why mweyitira detergent
Atamanyi mabala kale
Babe
You’re my
De-ter-gent

Agogola
You’re my love
You’re my love

Bwe bukya ku makya
Nga nze mmotoka
Nga ye garage
Ewuwe na paakinga
Laavu y’ono bw’eba bibala ku miti
Ffe abali mu busolya
Ono mukwano bw’aba awulula
Nze kideeya eki receivinga
Babe your love
(Your love)
Your love
(Your love)
Is full of magic
Guno omutima ogwajjula amabala
Gwe yaguzza mu color
Kati nvuga kaweweevu
Gyendi nanywera babe for sure

Agogola
Agogola
Lukunya lumu eh
Agogola
Agogola
Aaaah
Ooooh
Agogola