0:00
3:02
Now playing: Ndiisa Mpola

Ndiisa Mpola Lyrics by Ziza Bafana


Raaa!
Moskan
Bankuza batyo nga bampaana
By’ompaana kojja yaŋŋamba
Tebakuwaana n’olwala enfaana
Era tompaana ng’ate bw’onkiina
JJ vibe
Mic oh

Bw’ombulako nfa nkutuka mmenyeka gombo
Embiriizi z’ekaaka
Bw’onzirusa ndaba nga nkutuka
Wootali mu birowoozo ndaba onziruka
Ontwala mbiro nnyabo onteruka nteguka
Bwe nkulaba labayo nzirika
Laavu yo ssibanja
N’omukwano gwo nze ntutte ssibanja
By’ompadde mukwano ssibanja
Aah ah nfukirira nze ssibanja, yeah yeah
Katonda laavu yaffe bw’agigasse bwe tuba
By’ompadde mukwano bwe ndya bwe mmeketa

Ndiisa mpola tebintuga, ndiisa
Bwe ngyoya ekibumba nte gy’onsula, ndiisa
Bwe nkukamula mpoomerwa ka wine, ndiisa
Ntwala ku Café Javas tunywe ka chai, nywesa
Ndiisa mpola tebintuga, ndiisa
Bwe ngyoya ekibumba nte gy’onsula, ndiisa
Bwe nkukamula mpoomerwa ka wine, ndiisa
Ntwala ku Café Javas tunywe ka chai, nywesa

Bw’onnyonyogera, bw’onnyonyogera
Bw’onnyonyogera, nange mwattu neemwemwentula
Bw’onnyonyogera, bw’onnyonyogera
Bw’onnyonyogera, labayo mwattu neesesasesa
Laavu, bw’ompa ku biri bye wansuubiza
Tobiwa bali ba zinkuunye
N’omukwano gwo ngwetisse
Akabuzi keweggyako okanya mifumbi, so
Mu bufunze laavu yo enkutte ku mutima
Gy’ompadde ngikutte ku busomyo
N’omukwano gwo guntutte mu mazina
Ky’ova olaba ng’ondi munda mu buziba
Bwe bakumetta ettaka
Ndijjanga okunaaza ppaka nkutukuza
Ne bwe batuyisa mu bidiba
Dear sirikudibya
Nnyabo sirikukaddiya no!

Ndiisa mpola tebintuga, ndiisa
Bwe ngyoya ekibumba nte gy’onsula, ndiisa
Bwe nkukamula mpoomerwa ka wine, ndiisa
Ntwala ku Café Javas tunywe ka chai, nywesa
Ndiisa mpola tebintuga, ndiisa
Bwe ngyoya ekibumba nte gy’onsula, ndiisa
Bwe nkukamula mpoomerwa ka wine, ndiisa
Ntwala ku Café Javas tunywe ka chai, nywesa

Sotta sotta sotta…nyongera ggama
Olusoggo ndusimba mu gwe ng’ente ekamwa
Ne bwe nkunuunako akawoowo ko kasigala matama
Daily onsimattula eno wulira
Nze no tebintama
Sotta bike
Fire upon your eyes
Figure yo mi like
Sotta sotta bike
Your lips mi like
You’re pon me like
Your kiss mi like
Gyal every ting me like
Kati nze bwe mba ntudde, njaga
Ndowooza bwe mba ffenna nywedde, aah
Era ndowooza ku gwe
N’omutima gwo nsibye lumu
Bwe mba nywedde twesojja
Luyiira mwattu lututte
N’obutiiti bw’omukwano mwattu bunkutte
Bwentyo bwe mba
Lwotalabise nswadde
Bwe mba nimbye omukwano
Bba nsudde bye twateesa
Aah ku kyalo Kyabadaaza
Nabalekayo nga badaaga
Omukwano gwo n’ogwange gwesanze
Bonna bakwesunze ntidde ngejje
My gal gal gal gal…
Wampanika nga mmanyi osaaga
N’ongezesa ppaka ng’osiimye
Bwe wannyanjula ewaka ne bampita omusajja

Ndiisa mpola tebintuga, ndiisa
Bwe ngyoya ekibumba nte gy’onsula, ndiisa
Bwe nkukamula mpoomerwa ka wine, ndiisa
Ntwala ku Café Javas tunywe ka chai, nywesa
Ndiisa mpola tebintuga, ndiisa
Bwe ngyoya ekibumba nte gy’onsula, ndiisa
Bwe nkukamula mpoomerwa ka wine, ndiisa
Ntwala ku Café Javas tunywe ka chai, nywesa

Yeah Bafana
JJ Brand Future kuba
Nywesa