0:00
3:02
Now playing: Big Size

Big Size Lyrics by Bebe Cool


Yagaya yaya
Yagayaga yagayayo
Yeah yeah oh
Yeah yeah oh
Yagaya yaya oh x2

Big Size
Waliwo abamwepankako
Big Size
Tebamala gamwewanikako
Mr. Deejay konkona omuziki gunyume
Mbaliiremu akaboozi k’obulamu bwange x 2
Mu bimpi bampita Big Size Extra Large
Nannyini miziki Uganda gw’evunnamira
Kati wuliriza ekinfudde ensonga mu Uganda
Bwe bulamu bwange n’obuyimba bwe nkuba
Natandika ng’asaaga
Kati nkiri wakati
Ekintu kyayabise dda
Abalala baakivuddemu
It’s a group of boys
Groove of size
Abaali bakyebuuza kati bonna beddemu
Obulamu bwatandikira wano mu Kampala
Nga nkuba emiziki neefudde Mr. Kampala
Ne ŋendako e Nairobi nga bw’omanyi ewala
Agenze ne Chamili, twali mbeerera
Nsibye ebiviiri
Ne nsanga deemu
Kati tuzadde abaana bampita bba wa Zuena
Abayaaye bayimbye, babawadde Award
Bebe Cool ayimbye era abasinga z’Award!
Big Size
Waliwo abamwepankako
Big Size
Tebamala gamwewanikako
Mr. Deejay konkona omuziki gunyume
Mbaliiremu akaboozi k’obulamu bwange x 2
Natandika nkumi bbiri mu munaana ng’asaaga
Mbu Bebe Cool ayenze
Zuena agenze
Ba Kapere ne banzirako
Ne nfuuka ensonga
Bebe Cool ensonga?
Ensonga nga nnene!
Mba nkyali awo
Ne ntumya Hummer enkambwe
Abayaaye bankubiddeyo Uganda erinze
Zuena n’adda
Olwo ne ndubuuka
Ne mbuuka olutalo
Olutalo olunene
Mwaka kutandika
Ntandikidde mu masasi
Mba ndi ku kitanda mpulira abayaaye bebuuza
Eh, what’s goin’ on?
Omuyaaye agenze? No
Kumbe ne bbomu, enninze
Never joke with a prophet
Tozannya na Messiah
Katonda abeera n’ensonga
Ky’ava yantonda
Bw’oyagala okulumbagana omunene obeera okagudde
Obeera okagudde
Obeera okagudde
Kati obulamu bwange
Bubeere best example eri abantu
Nti okubonaabona okungi
Ssi kwe kufa
Nvudde masasi ne bbomu n’ebirala bingi
Naye kati nvuga Hummer, embi
Leka, leka teweerumya teweetuga tewetta yeah yeah
Olw’ebizibu ebingi ennyo
Bireke bijje bwe bimala bigenda obeera happy yeah
Leka leka gwe, teeweruma teweetuga yeah
Nga n’omukazi ye bw’aba agenze
Ajja kudda oba ojja kufunayo omulala
Obeere happy yeah
Yo! The Philosophy
It’s from the own agony
So big up to all mi rest people
Bless Renix Production
Yagayaga yagayayo
Yagayaga yagayayo
Yagayaga yagayayo