0:00
3:02
Now playing: Minzani

Minzani Lyrics by Bebe Cool


Hmmm
Eeh eh yeah eh
Eno minzaani
Oh oh uh oh
Oh oh mama mama

Nsaba busabi buno obubaka bwa leero
Bwe ndeese wabula buli omu abutwale
Ggwe atanyumirwa byange
Towuliriza nze, wabula wuliriza luyimba
Obulamu mmwe tuyita ne tunyigirizibwa
N’oluusi n’otuuka wekyaawe
Ebyo ebizibu mw’oyita bipande ebikulaga
Nti toyita awo, yita wano eno
Ky’ova olaba nkugamba
Nti bw’olaba akusinga ku myaka
Muwenga ekitiibwa
Ebizibu mw’ayise bwe biba bingi
Kitegeeza ayize bingi amagezi akusinga
Eno minzaani
Mukama y’apima
Buli omu aba n’ejjinja lye, bamba
Eno minzaani
Ebizibu byo birwanyise
Kubanga eryo ly’ejjinja lyo, oh uh
Eno minzaani
Mukama y’apima
Buli omu aba n’ejjinja lye, bamba
Eno minzaani
Ebizibu byo birwanyise
Kubanga eryo ly’ejjinja lyo
Kasita bikulema okulwanyisa
N’ebikusinga obuzito
Ggwe wesanga oli ku ddimwa yeah yeah
Abalabe bakulumba
Nabyo eno bikulumba
Ekyo kye bayita okuba omusajja
Nsekerera omulenzi eyeeyita omusajja
Olw’okuba ayambadde empale
Obulamu butupimira ku bizibu
Nga tonnabiraba tomanya buzito bwo
Bebe Cool mbayimbiddeyo kano akayimba
Mwenna kabakwate ku mitima
Aleekaanira banne ntino kalyonso
Ayige nti obulamu minzaani
Teweepikaamu mukka
Kukirako baluuni
Ng’ate okimanyi ejjinja lyo ddene
Bw’obeera ku minzaani yo ne balisuulako
Likukanyuga oluusi obutadda
Teweepikaamu mukka
Kukirako baluuni
Ng’ate okimanyi ejjinja lyo ddene
Bw’obeera ku minzaani yo ne balisuulako
Likukanyuga oluusi obutadda, eh
Yah take better take this one in you know
Serious business
Olina kulwanyisa bizibu byo obisinge obuzito
Oyitewo kuba obulamu minzaani
Buli ky’okola
Ggwe kikole ng’olwana kuyitawo
Kuba obulamu minzaani
Oli bw’abba akalulu
Naye abeera alwana kuyitawo
Kuba obulamu minzaani
Abalabe bakulumba nga naawe obalumba
Kuba obulamu bwe tuliko minzaani
Nze agazibu ngabuuka
Kuba nina obuzito obumala
Okuyitawo ku minzaani
Olina kulwanyisa bizibu byo obisinge obuzito
Oyitewo kuba obulamu minzaani
Buli ky’okola
Ggwe kikole ng’olwana kuyitawo
Kuba obulamu minzaani
Oli bw’abba akalulu
Naye abeera alwana kuyitawo
Kuba obulamu minzaani
Abalabe bakulumba nga naawe obalumba
Kuba obulamu bwe tuliko minzaani
Nze agazibu ngabuuka
Kuba nina obuzito obumala
Okuyitawo ku minzaani
Eno minzaani yeah yeah …
Eno mi… mi… eno mi…
Eeh eh
Eno mi… mi… eno mi…
Yeah yeah
Eno mi… mi… eno mi…
Yeah yeah
Mi… mi… mi…
Yo!
Well this one is Bebe Cool you know
Alongside one producer 2K
Inna di Dream Studios
Nince Henry
Well, take this one