0:00
3:02
Now playing: Let It Rain

Let It Rain Lyrics by Chosen Becky


Hmmmm
Let it rain ooh
Let it rain

Brian Beats

Nkusaba ntegera amatu nkubuulire
Ky’otegeeza gyendi
N’amaaso geegeke, ku nze
Nkunnyonnyole kye nazuula mu gwe
Gwe bulamu bwange
Nkulowoozaako, every night and day
Era gwe ssanyu lyange
Sirina kyenejjusa nze bwenkwagadde
Ng’ekitangaala omusana lwegutayase
Emmunyenye eyakaayakana mu kiro
Olinga kimuli enjuki zekitataliza babe, eeh
Ompuliza ng’ekyomuwendo
Eky’ebbeeyi ng’olugoye lw’amasanga
Nebwemba nkusuubula magendo
Nga nsinga bulamu baby eyo risk gy’ogwana
Nkusaba tonvangamu

Nkusaba let it rain, let it rain
Omukwano gukule
Nkusaba let it rain
Omukwano guwangaale
Nkusaba let it rain, let it rain
Omukwano gukule
Nkusaba let it rain
Omukwano guwangaale

Mbu ebirwa byerabirwa bwebagamba
Sijja kukyusa
Gwewaalabyeko ye mwana kye mmanyi
Nze awo we nalaalira
Sijja kusuubiza bingi bye siyinza
Mba nkulimbye
Nandyekaniikirira ne neewanika ne nnemwa
Mba nkunyiiza
Love gye nina
Ky’ekyobugagga kye nina kye neesiga
Bwentyo bwendi
Sirina bingi, naye nina gwe
Kati kansuubize, ndibeera wa mukwano
Era ndiba wuwo ppaka essaawa envannyuma
Terulikya nkuleke
Ndiguma wamu naawe, wamu naawe eeh

Nkusaba let it rain, let it rain
Omukwano gukule
Nkusaba let it rain
Omukwano guwangaale
Nkusaba let it rain, let it rain
Omukwano gukule
Nkusaba let it rain
Omukwano guwangaale

Nga ntendewaliddwa mpambaatira aah (aah)
Nga ne lwentubidde nkulinda alina amaanyi eeh (aah)
Ku gwe nakula
N’essanyu nafuna, hmmm
Ku bibyo kwe mbalira
Bye baŋŋamba bingi ekikyo kwe mbalira, eh
Sijja kusuubiza bingi bye siyinza
Mba nkulimbye
Nandyekaniikirira ne neewanika ne nnemwa
Mba nkunyiiza

Ku gwe nakula
Nkusaba let it rain
N’essanyu nafuna
Omukwano gukule
Ku bibyo kwe mbalira
Bye baŋŋamba bingi ekikyo kwe mbalira
Omukwano guwangaale
Ku gwe nakula
Nkusaba let it rain
N’essanyu nafuna
Omukwano gukule
Ku bibyo kwe mbalira
Bye baŋŋamba bingi ekikyo kwe mbalira
Omukwano guwangaale
Ku gwe nakula