Omuntu gwe nasomosa Ne bukumalamu obwo obuntu obutono Nootakola bye wasuubiza, oh oh! Amaziga ge nakungula Gwe gwe nali manyi nti mazima tuliba bumu Ppaka bwe tulikaddiwa, ooh! Mazima naggya wa omwesigwa? Oyo gwe mbuuliranga ebyama byange Naatabibunya gy’ayita, eh eh! Oyo atammaze kwegula Gwe nalaganga gye ntereka ebyange Naabulako kyabuza, eeh! By’afuna bye batunuulira, eeh Lwe biba bibuze nga batunula walala Tebayagala bibasumbuwa, ooh! Lwaki wanneefuulira? Gwe eyaŋŋumyanga n’okaaba amaziga Kulwa bali bye bankola, eeh! Yakiyiye (yankutudde) Tabirinako (eeh eh) Yakyuse (yankutudde) Yazize omulyo ooh Yakiyiye eh (yankutudde) Alaga tabirinako oh (eeh eh) Namenyese (yankutudde) Bino ssikyabiddako ooh Emikwano kati gya kifere-re Emitima mikalu kati gyereeze Bwonna obwesigwa mu bantu bwagenze Sitaani atuli ku migongo yeeweese Baffe be batutugumbula Oyo gw’olina owookumwanjo ddala Abalabe y’abasaggula, eeh Gwe weesiga y’akupangira, ooh Gw’owakanira ennyo ennyo Y’akubajja ku mugongo tebeesigwa, ooh Kiki ekyakutabangula? Nootafunamu ku ndowooza ndala Kukoma kw’ebyo bye wankola, eeh! Jjukira bye wali wasuubiza N’ondayirira nti nno magombe Mpozzi ge galitusattula, ooh! Mpulira mmenyese mbikooye Era nzikirizza ŋŋonze Yandibadde omulala nga ssi gwe Eyandekesa byonna mbe naawe Kirabika ssirisiimibwa nze Oba nga n’owange akaaye Yakiyiye (yankutudde) Tabirinako (eeh eh) Yakyuse (yankutudde) Yazize omulyo ooh Yakiyiye eh (yankutudde) Alaga tabirinako oh (eeh eh) Namenyese (yankutudde) Bino ssikyabiddako ooh Nasigala ku mutego, eeh eh Ng’owange y’antunze eddobo Yandeka mu bisago Ye yeeyagala ali eri ssebo Bano basala bulago Tobamalirako mwoyo gwo Batutunda muwogo Ng’obulamu bwo abulyamu enkoko Teebereza gwe nabuulira Buli kyama kyange ne nkisensula Gyali teyansaasira, ooh Kale nga yaŋŋumyagumya Mbu ye wa njawulo ddala N’ansaba omutima ne ngubikkula, eeh Herbert Skillz pon deh one Yakiyiye (yankutudde) Tabirinako (eeh eh) Yakyuse (yankutudde) Yazize omulyo ooh Yakiyiye eh (yankutudde) Alaga tabirinako oh (eeh eh) Namenyese (yankutudde) Bino ssikyabiddako ooh
Show more