0:00
3:02
Now playing: Ffe Byagaana

Ffe Byagaana Lyrics by David Lutalo


Oli mukulu naye
Lekera awo okweyisa nga bwolaba
Yadde nga twawaba
Tukwatire wamu mmanyi tulyebbula
Kakati tuli mu Matongo
Tuyongobereddeeyo nanti twabula
Omulembe gwaffe gwafa
Ssitaani jadda gyetugenda
Tetutunudde ku kalenda
Anoonya gunnya mwatuziika
Omujiji gwaffe ggwo
Gwamenyeka ate tegukyasobola kuddamu kuyunga
Batubuulirira twesooza
Tulinga ffe abaasookawo mu nsi

Tulina kulungamya mabujje
Kuba ffe nebwebakola ki byagaana
Abato okubajja mu kitimba
Tukwatire wamu tubalungamye

Tulina kulungamya mabujje
Kuba ffe nebwebakola ki byagaana
Abato okubajja mu kitimba
Tukwatire wamu tubalungamye

Tulungye omuto omusaayi
Tetugusigamu bukyayi
Tetuguganya kulya bisaanyi
Eno ensi yajjamu kawaali
Ffe twava mu kika
Ennono zensi kati zaatabanguka
Amakubo twagasengula
Bulyomu waalabye akawunju waalaga

Let me ask a question
Where is your destination?
Lwaki tumala gapaala
Nga tulinga emisota mu ttaaba
Tuli mu kabi togaana
Mu maaso ndabayo nze Danger, Ohhh!

Tulina kulungamya mabujje
Kuba ffe nebwebakola ki byagaana
Abato okubajja mu kitimba
Tukwatire wamu tubalungamye

Tulina kulungamya mabujje
Kuba ffe nebwebakola ki byagaana
Abato okubajja mu kitimba
Tukwatire wamu tubalungamye

Double Kick
Yaled

Emize gyetuyiga
Egyomuddiringanwa gyitunnyika
Yadde ffe twafuna endali
Naye tetuleka bato bbali
Kiki tuzimbisa ate matabi?
Tusimbe emiti okunaava empagi

Please let us try
We should not let the children cry
Future y'omuto okubeera fine
Talina kusula mu bikaali
Bonereza naye si na lukaali
Tomukuba kumuyiwa musaayi
Muyigirize
Buli kaze akabi okamwekingirize
Mutangire emize
Asobole okubeera ne future ennamu
Aleme kuba nga ffe

Tulina kulungamya mabujje
Kuba ffe nebwebakola ki byagaana
Abato okubajja mu kitimba
Tukwatire wamu tubalungamye

Tulina kulungamya mabujje
Kuba ffe nebwebakola ki byagaana
Abato okubajja mu kitimba
Tukwatire wamu tubalungamye



About the song "Ffe Byagaana"

Richard Mugaya