Babongoote David Lutalo
Eno saala yabo boona abantenka abanjagaliza ebibi
Bambi taata eyatonda egulu nensi nkusabye bawe ebirungi
Ebibaletera okutigomya abalala obibawe nga mubungi
Osanga banagwamu omutima ogwo ogubafukula mulangi
Nkisabye lwa bulungi
Yadde nga munda nina obulumi
Omutima bagujuza ebituli
Naye gwe basasule bulungi
Kuba byenina tebibakusa
Bandide nsigaza kuta, eh!
Amanyo nebwegabawanguka
Amagumba bebagalwanira, oooh!
Ebibuno newebibanubuka
Gwakute asigala alumwa, oh oh!
Abalabe bange baakuse
Bakutte babongoote (mukama eh!)
Nze neyagale nga bebase
Bakutte babongoote
Buli lunaku obawe emere
Bakutte babongoote (katonda wange eh!)
Neyagale nga bebase
Bakutte babongoote, oh oh!
Okwagala ngate omusayi gwange
Ogwo gwe musango gwange
Buli atemye omugongo gwange
Katonda mukuteredde
Bamekesse obugumba bwoona
Nafusse kabuzi kabwe
Batayiiza mu nsonda zoona
Bakonye ekyenyi kyange
Ekinyinga nti bantegeza
Mbu ndi muganda wabwe
Nga baagala kubaaga diba lyange
Balise lumonde wabwe
Banfudde mukalo gwa ngege
N'obugumba basonjole
Ninga miwula gya ffene
Bansokodde bawomerwe
Mungu baano bwotabawe
Bamekese enjala zange mubigere
Bawe emere babwegere
Balye n'ebigere basindise
Abalabe bange baakuse
Bakutte babongoote (mukama eh!)
Nze neyagale nga bebase
Bakutte babongoote
Buli lunaku obawe emere
Bakutte babongoote (katonda wange eh!)
Neyagale nga bebase
Bakutte babongoote, oh oh!
Njira nembuuza taata lwaki
Katonda sabalwanyi
Gwenjagala amponye ebisanyi
Ate yangiwa omusaayi
Owomukwano mubitonde yaani
Ddala omululu gwaki
Ewava olukalikali
Wanene ensobi eri kwani
Ssebo mukama katonda wange, eh
Bawe emikyeli baakute, ooh ooh!
Nze nsaba magezi bwongo
Obatere mu mabakuli akalo
Buli kyakulya okibawe leero
Omukuto gubalete otulo
Babenga mukulya bulijjo
Enjala yeba efunguze kubuko
Bazinga n'enkata ekiro
Baaja okumira obwana obuto
Abalabe bange baakuse
Bakutte babongoote (mukama eh!)
Nze neyagale nga bebase
Bakutte babongoote
Buli lunaku obawe emere
Bakutte babongoote (katonda wange eh!)
Neyagale nga bebase
Bakutte babongoote, oh oh!
Abalabe bange baakuse
Bakutte babongoote (mukama eh!)
Nze neyagale nga bebase
Bakutte babongoote
Buli lunaku obawe emere
Bakutte babongoote (katonda wange eh!)
Neyagale nga bebase
Bakutte babongoote, oh oh!